bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 7
Hebrews 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
1
Melikizeddeki oyo yali kabaka w'e Saalemu era kabona wa Katonda Atenkanika. Aburahamu bwe yali ng'ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Melikizeddeki n'amusisinkana, era n'amuwa omukisa.
2
Aburahamu n'awa Melikizeddeki oyo ekitundu ekimu eky'ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Melikizeddeki litegeeza “Kabaka ow'emirembe.”
3
Ebimwogerako tebyogera ku kitaawe wadde nnyina, wadde bajjajjaabe. Era tebyogera na ku lunaku lwe yazaalirwako, wadde lwe yafiirako. Afaanaanyirizibwa n'Omwana wa Katonda, aba Kabona ow'olubeerera.
4
Kale mulabe ng'omuntu oyo bwe yali omukulu! Aburahamu jjajjaffe omukulu yamuwa ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebyo bye yanyaga.
5
Bazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, Amateeka gabalagira okusolooza ku bantu ekitundu ekimu eky'ekkumi, newaakubadde ng'abantu abo baganda baabwe, kwe kugamba nabo bazzukulu ba Aburahamu.
6
Melikizeddeki si muzzukulu wa Leevi, kyokka yaggya ku Aburahamu ekitundu ekimu eky'ekkumi, era n'amuwa omukisa, sso nga Aburahamu ye yasuubizibwa.
7
Tewali kubuusabuusa, omukulu ye awa omuto omukisa.
8
Bwe twogera ku bakabona, ekitundu ekimu eky'ekkumi kifunibwa abantu abafa. Naye ku Melikizeddeki, kifunibwa oyo akakasibwa Ebyawandiikibwa nti mulamu.
9
Oyinza okugamba nti Leevi yennyini aweebwa ekitundu ekimu eky'ekkumi, naye yakiweerayo mu Aburahamu,
10
kubanga yali ng'akyali mu ntumbwe za jjajjaawe Aburahamu, Melikizeddeki bwe yamusisinkana.
11
Amateeka gaaweebwa abantu ba Yisirayeli nga geesigamye ku bwakabona bwa Baleevi. Kale singa omulimu gwa bakabona Abaleevi gwali gutuukiridde, tewandyetaagiddwawo kabona mulala okujja, nga wa lubu lwa Melikizeddeki, olutali lwa Arooni.
12
Obwakabona bwe bukyusibwa, era n'amateeka tegalema kukyusibwa.
13
Mukama waffe ayogerwako ebigambo ebyo, wa mu kika kirala omutavanga muntu n'omu kuweereza nga kabona.
14
Kimanyiddwa nti yava mu kika kya Yuda, Musa ky'atayogerangako nti kirivaamu bakabona.
15
Ebyo byeyongera okutegeerekeka, bwe wasitukawo kabona omulala ali nga Melikizeddeki,
16
ataalondebwa kusinziira ku mateeka n'ebiragiro ebifuga abantu, wabula ku buyinza bw'obulamu obutakoma.
17
Oyo ayogerwako nti: “Oli kabona emirembe gyonna, mu lubu lwa Melikizeddeki.”
18
Ekiragiro ekyasooka, kyadibizibwa olw'obunafu n'obutagasa bwakyo,
19
kubanga Amateeka tegaliiko kye gaatuukiriza. Kaakano kyewaava waleetebwawo essuubi erisingawo, erituleetera okusemberera Katonda.
20
Era kino tekyakolebwa watali kirayiro. Bo Abaleevi baafuulibwa bakabona nga tewali kirayiro.
21
Naye Yesu yafuulibwa kabona nga waliwo ekirayiro, Katonda bwe yamugamba nti: “Mukama yalayira, era talyejjusa: Oli kabona emirembe gyonna.”
22
Yesu kyeyava afuuka omuyima w'endagaano esinga obulungi.
23
Bakabona bali baali bangi, kubanga baafanga, ne batasobola kusigalawo bbanga lyonna.
24
Naye Yesu nga bw'ali omulamu emirembe gyonna, obwakabona bwe bwa lubeerera.
25
Kyava ayinza bulijjo okulokola abo abajja eri Katonda nga bayita mu ye, kubanga abeera mulamu ennaku zonna, okubawolerezanga.
26
N'olwekyo Ssaabakabona ng'oyo omutuukirivu, ataliiko kisobyo, ataliiko bbala, atabalirwa mu babi, era eyagulumizibwa okukira eggulu, ye yatusaanira.
27
Tali nga bassaabakabona abalala. Teyeetaaga kuwaayo buli lunaku bitambiro: okusooka olw'ebibi bye, n'oluvannyuma olw'ebibi by'abalala. Yawaayo ekitambiro omulundi gumu, bwe yeewaayo ye yennyini.
28
Amateeka be galonda okuba bassaabakabona, bantu buntu abalina obunafu. Naye ekigambo ky'ekirayiro kya Katonda ekyaddirira Amateeka, kyalonda Mwana omutuukirivu emirembe gyonna.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13