bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 3
Hebrews 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
1
Kale abooluganda era abantu ba Katonda, abaayitibwa okugabana ku bulamu obw'omu ggulu, mulowooze ku Yesu, Omutume era Ssaabakabona ow'eddiini gye tukkiriza.
2
Yali mwesigwa eri Katonda eyamulonda okukola omulimu ogwo, nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna.
3
Naye ng'omuzimbi bw'aba n'ekitiibwa ekisinga eky'ennyumba gye yazimba, bw'atyo ne Yesu asaanira ekitiibwa ekisinga ekya Musa.
4
Buli nnyumba ebaako eyagizimba. Naye eyazimba byonna ye Katonda.
5
Ne Musa yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna. Yali muweereza eyakakasa ebyo Katonda bye yali agenda okwogera.
6
Kyokka Kristo mwesigwa ng'Omwana akulira ennyumba ya Katonda. Ffe nnyumba ya Katonda, kasita tusigala bulijjo nga tuli banywevu, nga tulina essuubi eryo lye tweyagaliramu.
7
Kale nga Mwoyo Mutuukirivu bw'agamba: “Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8
temukakanyaza mitima gyammwe, nga bajjajjammwe bwe baajeema ku lunaku lwe baakemerako Katonda mu ddungu.
9
Eyo gye bankemera ne bangeza, ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana.
10
Kyennava nsunguwalira abantu abo, ne ŋŋamba nti: ‘Bulijjo baba bakyamu mu kulowooza kwabwe, tebamanyanga mateeka gange.’
11
Nasunguwala ne ndayira nti: ‘Siribawa kiwummulo n'akatono.’ ”
12
Kale, abooluganda, mwegendereze, waleme kubaawo n'omu ku mmwe aba n'omutima omukakanyavu era ogutakkiriza, n'ava ku Katonda Nnannyinibulamu.
13
Mu kifo ky'okuva ku Katonda, mubuuliriragane buli lunaku, nga “Olwaleero” lukyaliwo, waleme kubaawo n'omu ku mmwe obulimba bw'ekibi gwe bukakanyaza omutima,
14
kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, kasita tunywereza ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, ne tubutuusa ku nkomerero.
15
Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Olwaleero bwe munaawulira eddoboozi lya Katonda, temukakanyaza mitima gyammwe, nga bajjajjammwe bwe beewaggula ku Katonda.”
16
Be baani abaawulira eddoboozi lya Katonda ne bamujeemera? Be bo bonna Musa be yakulembera n'abaggya mu Misiri.
17
Era be baani Katonda be yasunguwalira okumala emyaka amakumi ana? Be bo abaayonoona, ne bafa, era emirambo gyabwe ne gisigala mu ddungu.
18
Era be baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Be bo abaamujeemera.
19
Kale tulaba nti baalemwa okuyingira lwa butakkiriza bwabwe.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13