bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 5
Hebrews 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
1
Buli ssaabakabona, alondebwa mu bantu n'ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe. Awaayo ebirabo n'ebitambiro eri Katonda olw'ebibi byabwe.
2
Asobola okukwata empola abo abatamanyi n'abawaba, kubanga naye yennyini munafu mu bintu bingi.
3
Era olw'obunafu obwo, ateekwa okuwaayo ebitambiro olw'ebibi bye, nga bw'awaayo olw'ebibi by'abantu abalala.
4
Tewali ayinza kwewa kitiibwa ekyo, okuggyako oyo Katonda gw'ayise, nga Arooni bwe yayitibwa.
5
Bw'atyo ne Kristo teyeewa yekka kitiibwa kya bwa ssaabakabona, wabula kyamuweebwa Katonda eyamugamba nti: “Oli Mwana wange, olwaleero nkuzadde.”
6
Era awalala Katonda agamba nti: “Ggwe oli kabona emirembe gyonna, mu lubu lwa Melikizeddeki.”
7
Yesu mu bulamu bwe obw'oku nsi, mu ddoboozi ery'omwanguka ne mu maziga, yeegayirira era n'asaba Katonda eyalina obuyinza okumuwonya okufa. Era yawulirwa, kubanga yassangamu Katonda ekitiibwa.
8
Newaakubadde nga yali Mwana wa Katonda, yayiga obuwulize, ng'abuyigira mu ebyo bye yabonaabonamu.
9
Bwe yamala okutuukirira, n'afuuka ensulo y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamugondera,
10
era Katonda n'amufuula Ssaabakabona mu lubu lwa Melikizeddeki.
11
Tulina bingi eby'okwogera ku ekyo, era ebizibu okubannyonnyola, kubanga muteegera mpola.
12
Kuba newaakubadde nga kaakano mwandibadde muli bayigiriza, naye era mukyetaaga ow'okubayigiriza ebisookerwako mu kuyiga ekigambo kya Katonda. Era mukyasaanira mata, sso si mmere nkalubo.
13
Buli akyasaanira amata, aba akyali mwana muto, atayawula kituufu na kikyamu.
14
Naye emmere enkalubo ya bantu bakulu, abamaze okuyiga ne bamanya okwawula ekirungi n'ekibi.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13