bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 8
Hebrews 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
1
Ekigambo ekikulu mu bye twogedde kye kino: Ssaabakabona gwe tulina bw'atyo bwe yenkana, era atudde ku ludda olwa ddyo olw'entebe ey'obwakabaka eya Nnannyinibuyinza mu ggulu.
2
Aweereza nga Ssaabakabona mu Kifo Ekitukuvu era mu Weema yennyini etaateekebwawo muntu, wabula Mukama.
3
Buli ssaabakabona ateekebwawo okuwaayo ebirabo n'ebitambiro eri Katonda. Ne Ssaabakabona waffe kyava agwanira okubaako ne ky'awaayo.
4
Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n'akatono, kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng'Amateeka bwe galagira.
5
Kye bakola kifaananako bufaananyi, era kisiikirize eky'ebyo ebikolebwa mu ggulu. Ne ku Musa bwe kyali. Bwe yali ng'agenda okukola eweema, Katonda yamulagira nti: “Byonna bikole ng'ogoberera ekyakulagibwa ku lusozi.”
6
Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n'endagaano gy'alimu ng'omutabaganya, ye esinga obulungi, n'ebisuubizo kw'enyweredde, bye bisinga obulungi.
7
Singa endagaano eyasooka teyaliiko ky'enenyezebwamu, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri.
8
Naye Katonda ayogera ng'anenya abantu be nti: “Mukama agamba nti: Ekiseera kirituuka, ne nkola endagaano empya n'abantu ba Yisirayeli, era n'ekika kya Yuda.
9
Teriba ng'endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe, ku lunaku lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'e Misiri, kubanga tebaanywerera ku ndagaano eyo. Nange kyennava ndekayo okubawuliriza. Bw'atyo Mukama bw'ayogera.
10
Eno ye ndagaano gye ndikola n'Abayisirayeli ennaku ezo bwe zirituuka, bw'atyo Mukama bw'ayogera. Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe. Era ndigawandiika mu mitima gyabwe. Ndiba Katonda waabwe, nabo ne baba bantu bange.
11
Tewaliba ayigiriza munne, wadde ayigiriza muganda we nti: ‘Manya Mukama.’ Okuviira ddala ku muto okutuuka ku mukulu, bonna balimmanya.
12
Ndibasonyiwa okwonoona kwabwe, n'ebibi byabwe siribijjukira nate.”
13
Katonda bw'ayogera ku ndagaano empya, aba akaddiyizza eyo eyasooka. Naye ekyo ekikula ne kikaddiwa, kiba kiri kumpi okuggwaawo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13