bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 9
Hebrews 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
1
Era n'endagaano eyasooka yalina amateeka agaagobererwanga mu kusinza Katonda, era yalina n'ekifo ekitukuvu eky'oku nsi.
2
Waateekebwawo ne weema omwali ekikondo ky'ettaala, emmeeza, n'emigaati egiweebwayo eri Katonda. Ekitundu ekyo nga kiyitibwa Ekifo Ekitukuvu.
3
Emabega w'olutimbe olwokubiri, we waali Eweema eyitibwa Entukuvu Ennyo.
4
Mu yo mwalimu ekyoterezo ky'obubaane, ekyakolebwa mu zaabu. Era mwalimu essanduuko ey'endagaano, ebikkiddwako zaabu enjuyi zonna. Mu ssanduuko eyo, mwalimu ekibya ekya zaabu, omwali mannu. Era mwalimu omuggo gwa Arooni ogwaloka, n'ebipande eby'amayinja okuwandiikiddwa ebiragiro bya Katonda.
5
Kungulu ku yo kwaliko bakerubi abeekitiibwa, abasiikirizza entebe ya Katonda nnannyini kusaasira. Ebyo byonna tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.
6
Ebyo byonna nga bimaze okutereezebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga bulijjo mu weema esookerwako, ne batuukiriza omulimu gwabwe.
7
Naye mu weema eyookubiri, mwayingirwangamu Ssaabakabona yekka, ng'ayingiramu omulundi gumu buli mwaka, era ng'ateekwa okutwalayo omusaayi gw'awaayo ku lulwe, ne ku lw'ebyonoono by'abantu bye bakola mu butamanya.
8
Mu bino byonna Mwoyo Mutuukirivu alaga nti ekkubo erituuka mu Kifo Ekitukuvu Ennyo lyali terinnamanyika, ng'eweema esookerwako ekyayimiriddewo.
9
Ekyo kyali kifaananyi bufaananyi eky'ebyo ebiriwo kati. Ebirabo n'ebitambiro ebyo ebyaweebwangayo, tebyayinzanga kutukuza mwoyo gw'oyo abiwaayo.
10
Byakomanga ku bya kungulu, ebifa ku kulya ne ku kunywa ne ku bulombolombo obw'okwetukuza, ebyali eby'okubeerawo okutuusa ku kiseera eky'okuzza ebintu byonna obuggya.
11
Naye Kristo bwe yajja nga ye Ssaabakabona w'ebirungi ebigenda okujja, yayita mu weema esinga obukulu n'okutuukirira, etaakolebwa bantu, kwe kugamba, eteri ya ku nsi kuno,
12
n'ayingirira ddala omulundi gumu mu Kifo Ekitukuvu, ng'amaze okutufunira okununulibwa okutaggwaawo. Teyayingirayo na musaayi gwa mbuzi na gwa nnyana, wabula yayingirayo na musaayi gwe gwennyini.
13
Omusaayi gw'embuzi n'ogw'ente ennume, n'evvu ly'ente enduusi, ebimansirwa ku abo abatali balongoofu, bibatukuza ne baba balongoofu mu byokungulu.
14
Kristo ataliiko kamogo yeewaayo eri Katonda, mu maanyi ga Mwoyo ataggwaawo. Kale omusaayi gwe tegulisingawo nnyo okunaaza emyoyo gyaffe, ne tuweereza Katonda Nnannyinibulamu?
15
N'olwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, kubanga abo abaasuubizibwa ebirungi ebitaggwaawo, abasobozesa okubifuna. Ekyo kisoboka, kubanga yafa n'anunula abantu mu bibi byabwe bye baakola nga bakyafugibwa endagaano eyasooka.
16
Ekiraamo kikakata ng'eyakiraama amaze kufa.
17
Ekiraamo tekikola ng'eyakiraama akyali mulamu, wabula amala kufa, ne kiryoka kikola.
18
N'endagaano eyasooka kyeyava ekakasibwa n'omusaayi.
19
Musa bwe yamala okutegeeza abantu ebiragiro byonna ebiri mu Mateeka, n'addira omusaayi gw'ennyana n'ogw'embuzi, wamu n'amazzi, n'ebyoya by'endiga ebimyufu, n'akati akayitibwa “Yisopu,” n'amansira ku kitabo ky'Amateeka ne ku bantu bonna,
20
nga bw'agamba nti: “Guno gwe musaayi ogukakasa endagaano Katonda gy'abalagidde okutuukiriza.”
21
Era mu ngeri ye emu, Musa n'amansira omusaayi ku weema ne ku bintu byonna ebikozesebwa mu kusinza.
22
Era mu Mateeka, kumpi buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi, tewabaawo kusonyiyibwa bibi.
23
Ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu byasaanira okutukuzibwa bwe bityo. Naye eby'omu ggulu byennyini, byetaaga okutukuzibwa n'ebitambiro ebisinga obulungi.
24
Kristo teyayingira mu Kifo Ekitukuvu ekyakolebwa abantu, nga kifaanana bufaananyi nga kiri kyennyini, wabula yayingira mu ggulu lyennyini, gy'ali kaakano, mu maaso ga Katonda ku lwaffe.
25
Kristo teyayingira kwewaayo mirundi mingi, nga Ssaabakabona bw'ayingira buli mwaka mu Kifo Ekitukuvu okuwaayo omusaayi ogutali gugwe.
26
Olwo Kristo yandibadde ateekwa okubonaabona emirundi mingi okuviira ddala ensi lwe yatondebwa. Naye kaakano yalabika omulundi gumu, mu mirembe gino egikomererayo, alyoke aggyewo ekibi, olw'okwewaayo yennyini.
27
Era nga buli muntu bw'afa omulundi ogumu, era bw'amala okufa, n'asalirwa omusango,
28
era ne Kristo bw'atyo. Yaweebwayo omulundi gumu okwetikka ebibi by'abangi. Alijja omulundi ogwokubiri, nga tazze kuddamu kulwanyisa kibi, wabula okuyimbula abo abamulindirira.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13