bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 2
Hebrews 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
1
N'olwekyo kyetuva tuteekwa okunywerera ddala ku ebyo bye twawulira, sikulwa nga tubivaako.
2
Oba ng'ebyo ebyayogerwa bamalayika byakakasibwa nga bya mazima, era buli ataabigobereranga, oba eyabijeemeranga, yaweebwanga ekibonerezo ekimusaanira,
3
kale ffe tuliwona tutya ekibonerezo, bwe tuligayaalirira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obwo Mukama yennyini ye yasooka okubutegeeza abantu, era abo abaabuwulira, ne batukakasa nga bwe buli obw'amazima.
4
Ne Katonda yennyini n'akakasa ebigambo byabwe, ng'akola ebyewuunyo n'ebyamagero era n'eby'amaanyi ebitali bimu, era ng'agaba n'ebirabo bya Mwoyo Mutuukirivu nga bwe yayagala.
5
Katonda teyawa bamalayika kufuga nsi gye twogerako, egenda okubaawo.
6
Naye omu, waliwo w'akakasiza mu byawandiikibwa, ng'agamba nti: “Omuntu ataliiko bw'ali, lwaki omulowoozaako? Era omuntu obuntu, lwaki omulumirwa?
7
Wamutonda n'abulako katono okwenkana bamalayika. Wamutikkira engule eyeekitiibwa n'ettendo, n'omuwa okufuga ebintu byonna bye wakola.
8
Ebintu byonna wabiteeka mu buyinza bwe.” Bwe yassa ebintu byonna mu buyinza bwe, talina kintu na kimu ky'ataamuwa kufuga. Naye kaakano tetunnalaba nga byonna abifuga.
9
Wabula gwe tulaba ye Yesu. Olw'ekisa kya Katonda, yakolebwa n'abulako katono okwenkana bamalayika, alyoke afiirire abantu bonna. Tumulaba ng'atikkiddwa engule eyeekitiibwa n'ettendo, olw'okufa kwe.
10
Katonda eyatonda ebintu byonna era abibeesaawo, yasiima okuleeta abaana be abangi mu kitiibwa. N'olwekyo yalaba nga kisaanye okutuukiriza omukulu w'obulokozi bwabwe, ng'ayita mu kubonaabona,
11
kubanga abo abatukuzibwa era n'oyo abatukuza, bonna balina Kitaabwe omu. Era Yesu kyava takwatibwa nsonyi okubayita baganda be.
12
Agamba nti: “Ndikumanyisa mu baganda bange, ndikutenderereza mu kkuŋŋaaniro wakati.”
13
Era agamba nti: “Nja kwesiganga Katonda.” Era yeeyongera n'agamba nti: “Ndi wano n'abaana, Katonda be yampa.”
14
Kale abo Yesu b'ayita abaana nga bwe bali abantu, naye yennyini yafuuka omuntu nga bo. Yakola bw'atyo, alyoke asobole okufa, era mu kufa kwe, azikirize Sitaani alina obuyinza ku kufa,
15
bw'atyo alyoke awe eddembe abo bonna abaali abaddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa.
16
Mazima, bamalayika si be yajjirira okuyamba, wabula yajjirira kuyamba bazzukulu ba Aburahamu.
17
Kyeyava afaanana nga baganda be mu byonna, alyoke aweereze Katonda nga Ssaabakabona ow'ekisa era omwesigwa, asonyiyisa abantu ebibi byabwe.
18
Era kaakano asobola okuyamba abo abakemebwa, kubanga ye yennyini yakemebwa era n'abonaabona.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13