bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 12
Hebrews 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
1
Kale naffe nga bwe tulina abajulirwa abangi bwe batyo abatwetoolodde, tweyambule buli kintu ekituzitoowerera, era n'ekibi ekitwesibako. Twetabe mu mpaka ez'okudduka ezituteereddwawo, era tudduke nga tuli bagumiikiriza,
2
nga tutunuulira Yesu yekka eyatandika era atuukiriza okukkiriza kwaffe. Yesu oyo, olw'essanyu lye yali alindirira, yagumira omusaalaba, n'atatya kuswala. Kaakano atudde ku ludda olwa ddyo olw'entebe ya Katonda.
3
Mulowoozenga ku kuwakanyizibwa okwenkana awo, aboonoonyi kwe baamuwakanyaamu, mulyoke mulemenga okukoowa n'okuterebuka.
4
Mu kulwanyisa ekibi, temunnalwana kutuuka ku kuyiwa musaayi gwammwe.
5
Mwerabidde ebigambo ebibabuulirirwa Katonda ng'ayogera nammwe ng'abaana? Agamba nti: “Mwana wange, togayanga kukangavvula kwa Mukama. Era toddiriranga bw'akunenyanga,
6
kubanga oyo Mukama gw'ayagala, amukangavvula, era abonereza buli gw'ayita omwana we.”
7
Mugumiikirizenga okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng'abaana be. Kale mwana ki kitaawe gw'atakangavvula?
8
Naye bwe mutakangavvulwa ng'abalala bwe bakangavvulwa, muba beeboolereze, sso si baana ddala.
9
Twalina bakitaffe mu mubiri, abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa. Kale tetulisingawo nnyo okugondera Kitaffe mu mwoyo, ne tuba balamu?
10
Bakitaffe abo baatukangavvuliranga ekiseera kitono olw'ebyo bye baayagalanga. Kyokka Katonda atukangavvula olw'okutugasa, tulyoke tugabane ku butukuvu bwe.
11
Bwe tuba tukangavvulwa, mu kiseera ekyo okukangavvulwa kufaanana ng'okutaleeta ssanyu wabula obulumi. Naye oluvannyuma, abo abagunjulwa okukangavvulwa okwo, bafuna eddembe n'obutuukirivu.
12
Kale muyimuse emikono gyammwe egiragaya, munyweze amaviivi gammwe agajugumira.
13
Mutambulirenga mu makubo amagolokofu, awenyera aleme kulemala, wabula awone.
14
Mufubenga okuba n'emirembe mu bantu bonna, era mufubenga okuba n'obutukuvu, kubanga we butali tewali aliraba Mukama.
15
Mwerinde, waleme kubaawo yeefiiriza kisa kya Katonda. Mwerinde, waleme kubaawo bubi busituka mu mmwe, ne bubatabulatabula, era ne bwonoona bangi.
16
Mwerinde, waleme kubaawo mwenzi, oba alulunkanira eby'ensi nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw'olulya olumu.
17
Mumanyi nti oluvannyuma, bwe yayagala okufuna omukisa, tegwamuweebwa, kubanga teyafuna ngeri ya kujjulula kye yali akoze, newaakubadde yagusaba ng'akaaba.
18
Temuzze ng'Abayisirayeli bwe bajja ku Lusozi Sinaayi lwe muyinza okukwatako, era olwaka omuliro. Era temuzze eri ekizikiza ekikutte zzigizigi, ne kibuyaga,
19
n'okuvuga kw'eŋŋombe, n'eddoboozi ly'ebigambo, eryaleetera abaaliwulira okwegayirira baleme kweyongera kuliwulira.
20
Tebaasobola kugumira kiragiro ekyabaweebwa, ekigamba nti: “Ne bw'eba nsolo n'etuuka ku lusozi, eteekwa okukubibwa amayinja efe!”
21
Ddala ebyalabibwa byali bya ntiisa nnyo, Musa n'atuuka n'okugamba nti: “Ntidde nnyo, ne nkankana!”
22
Naye mmwe muzze ku Lusozi Siyooni, era mu kibuga kya Katonda Nnannyinibulamu, Yerusaalemu eky'omu ggulu, bamalayika enkumi n'enkumi gye bakuŋŋaanidde.
23
Muzze mu lukuŋŋaana olunene olw'abaggulanda abaawandiikibwa mu ggulu. Muzze eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n'eri emyoyo gy'abatukuvu, abaatuukirizibwa.
24
Muzze eri Yesu Omutabaganya ow'endagaano empya. Muzze eri omusaayi ogw'okumansira, ogwogera ebirungi okusinga ogwa Abeeli.
25
Mwerinde, muleme kugaana okussaayo omwoyo ku oyo ayogera. Abo abaagaana okuwulira eyabalabula ng'ali ku nsi, tebaawona, n'olwekyo ffe bwe tugaana okuwulira oyo atulabula ng'ali mu ggulu, tetulina we tuliwonera.
26
Eddoboozi lye lyanyeenya ensi, naye kaakano yasuubiza nti: “Njija kuddamu okukankanya ensi, ku luno si nsi yokka, naye n'eggulu.”
27
Okugamba nti “Njija kuddamu,” kitegeeza nti ebitonde ebinyeenyezebwa biriggyibwawo, olwo ebyo ebitanyeenyezebwa biryoke bisigalewo.
28
Kale nga bwe tufuna obwakabaka obutanyeenyezebwa, twebazenga Katonda, era tumusinzenga nga bw'asiima, nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya,
29
kubanga Katonda waffe, muliro, ayokya!
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13