bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 4
Hebrews 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
1
Ekyo Katonda kye yatusuubiza eky'okuyingira mu kiwummulo kye, kikyaliwo. Kale tutye, sikulwa nga wabaawo ku mmwe alemwa okuyingira mu kiwummulo ekyo.
2
Naffe twawulira Amawulire Amalungi, nga nabo bwe baagawulira. Naye bye baawulira, tebyabagasa, kubanga bwe baabiwulira, tebaabikkiriza.
3
Ffe abakkiriza, ffe tuyingira mu kiwummulo ekyo, nga Katonda bwe yagamba nti: “Nasunguwala ne ndayira nti: ‘Siribawa kiwummulo n'akatono.’ ” Kino yakyogera, newaakubadde ng'emirimu gye gyaggwa, bwe yamala okutonda ensi.
4
Olunaku olw'omusanvu lulina we lwogererwako, awagamba nti: “Katonda n'awummula emirimu gye gyonna ku lunaku olw'omusanvu.”
5
Kino era kyogerwako nti: “Siribawa kiwummulo n'akatono.”
6
Abo abaasooka okuwulira Amawulire Amalungi, tebaayingira mu kiwummulo ekyo, olw'obutakkiriza bwabwe. N'olwekyo waliwo abalala abakkirizibwa okuyingira.
7
Ekyo kiri bwe kityo, kubanga Katonda yateekawo olunaku oluyitibwa “Leero.” Nga wayiseewo emyaka mingi, Katonda alwogerako ng'ayita mu Dawudi, nga bwe twagambye waggulu nti: “Leero bwe munaawulira eddoboozi lya Katonda, temukakanyaza mitima gyammwe.”
8
Singa Yoswa yabatuusa mu kiwummulo, oluvannyuma Katonda teyandyogedde ku lunaku lulala.
9
N'olwekyo abantu ba Katonda bakyalinawo ekiwummulo eky'oku lunaku olw'omusanvu,
10
kubanga buli muntu, Katonda gw'awa ekiwummulo, awummula emirimu gye, nga Katonda bwe yawummula egigye.
11
Kale tufubenga okufuna ekiwummulo ekyo, waleme kubaawo alemwa kuyingira olw'okujeema nga bali.
12
Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola, era kyogi okusinga ekitala ekirina obwogi ku njuuyi zaakyo zombi. Kiyingirira ddala munda, ne kituuka n'okwawula omutima n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyekenneenya ebirowoozo n'okufumiitiriza okw'omu mutima.
13
Tewali kitonde na kimu kiyinza kwekweka Katonda. Ebintu byonna byeruliddwa era birabibwa Katonda, era oyo gwe tugenda okuwoleza.
14
Kale tunywereze ddala okukkiriza kwaffe kwe twatula, kubanga tulina Ssaabakabona omukulu bw'atyo, Yesu Omwana wa Katonda, eyayingirira ddala eri Katonda.
15
Ssaabakabona gwe tulina, alumirwa wamu naffe, mu bunafu bwaffe, kubanga mu byonna yakemebwa nga ffe bwe tukemebwa, kyokka n'atakola kibi.
16
Kale tugume okusemberera entebe ya Katonda nnannyini kisa, alyoke atusaasire, era atukwatirwe ekisa buli lwe tuba twetaaga okuyambibwa.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13