bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 6
Hebrews 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
1
Kale ka tuleke ebyo ebisookerwako mu kunnyonnyola ku Kristo,tweyongere mu maaso okuyiga ebisingawo era eby'ekikulu mu kumukkiriza. Twabayigiriza dda ebigambo ebiri ng'omusingi, era tetwetaaga kubiddamu. Mumanyi bwe kitagasa okgezaakookulokolebwa nga tuyita mu bikolwa byaffe, era mumanyi obukulu obuli mu kukkiriza Katonda.
2
Twabayigiriza dda ebifa ku kubatizibwa okwa buli ngeri, n'okussibwako emikono. Mumanyi ebifa ku kuzuukira ne ku kusalirwa omusango okutalikyukako.
3
Kaakano ka tugende ku bikulu, era ekyo kye tunaakolanga, Katonda ng'ayagadde.
4
Kubanga abo abaamala okufuna ekitangaala kya Katonda, ate ne bakivaamu, tekiriyinzika kubakomyawo mu kwenenya. Baalega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu.
5
Baamanya obulungi bw'ekigambo kya Katonda, era n'amaanyi ag'emirembe egigenda okujja.
6
Ate kaakano baddamu okukomerera ku musaalaba Omwana wa Katonda, era ne bamuswaza mu lwatu.
7
Ettaka erinywa enkuba eritonnyako emirundi emingi, ne likuza ebimera abalirima bye beetaaga, Katonda aliwa omukisa.
8
Naye bwe likuza amaggwa n'omuddo, liba terikyagasa, era nga lirindiridde kuvumirirwa na kuzikirizibwa muliro.
9
Naye abaagalwa, newaakubadde nga twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusaamu. Tumanyi nti muli bulungi, era muli mu kkubo eritutuusa mu kulokolebwa,
10
kubanga Katonda mwenkanya, tayinza kwerabira mulimu gwe mwakola, n'okwagala kwe mwamulaga mu buyambi bwe mwawa, era bwe muwa abantu be.
11
Era twagala nno buli omu mu mmwe okulaganga obunyiikivu obwo, okutuusa ku nkomerero, lwe mulifuna kye musuubira.
12
Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng'abo abakkiriza era abagumiikiriza, ne bafuna ebyasuubizibwa.
13
Katonda bwe yasuubiza Aburahamu, yeerayirira yekka, kubanga tewaaliwo amusinga bukulu, gw'ayinza kulayira.
14
Yagamba nti: “Mazima ndikuwa omukisa, ne njaza ezzadde lyo.”
15
Aburahamu yagumiikiriza, bw'atyo n'afuna Katonda kye yamusuubiza.
16
Abantu balayira oyo abasinga obukulu, era ekirayiro bwe bukakafu obusalawo empaka zaabwe zonna.
17
Katonda kyeyava alayira, akakase bye yasuubiza. Yayagala okukakasiza ddala abo abalifuna ebyasuubizibwa, nti bye yasuubiza talibikyusa.
18
Katonda yakola ebintu bibiri ebitajjulukuka, era by'atayinza kulimbiramu: yasuubiza, era n'alayira. N'olwekyo ffe abadduka okunoonya obubudamo mu ye, tuddamu nnyo amaanyi, ne tunyweza essuubi lye tuluubirira.
19
Essuubi eryo lye linywereza ddala emitima gyaffe ng'ennanga bw'enyweza eryato. Era liyingirira ddala mu kifo ekitukuvu, ekiri emabega w'olutimbe,
20
Yesu gye yatusooka okuyingira ku lwaffe, ng'afuuse Ssaabakabona mu lubu lwa Melikizeddeki.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13