bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 13
Hebrews 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
1
Mwongere okwagalananga ng'abooluganda mu Kristo.
2
Temwerabiranga kwaniriza bagenyi, kubanga waliwo abaayaniriza bamalayika nga tebamanyi.
3
Mujjukirenga abasibe, nga muli ng'abaasibirwa awamu nabo. Era mujjukirenga abo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe mulina omubiri.
4
Okufumbiriganwa kussibwengamu abantu bonna ekitiibwa, era obufumbo bukuumibwenga nga butukuvu, kubanga abakaba n'abenzi, Katonda alibasalira omusango.
5
Mulemenga kuba ba mululu, bye mulina bibamalenga, kubanga Katonda yagamba nti: “Sirikuleka, era sirikwabulira n'akatono”.
6
Kyetuva twogera n'obwesige nti: “Mukama ye mubeezi wange, siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?”
7
Mujjukire abakulembeze bammwe, abaabategeeza ekigambo kya Katonda. Mwetegereze ebyo bye baayitamu mu bulamu bwabwe, mugoberere okukkiriza kwabwe.
8
Yesu Kristo nga bwe yali jjo, bw'ali ne leero, era bw'aliba emirembe n'emirembe.
9
Mulemenga kuwubisibwa kuyigiriza okutali kumu, abantu kwe baleetereza. Kirungi okuba n'omutima ogunyweredde ku kisa kya Katonda, sso si ku bulombolombo bwa byakulya, obutagasa abo ababugoberera.
10
Tulina alutaari, abo abaweereza mu weema gye batakkirizibwa kuliirako.
11
Ssaabakabona atwala omusaayi gw'ensolo mu Kifo Ekitukuvu, n'aguwaayo olw'ebibi, naye zo ne zookerwa ebweru w'olusiisira.
12
Ne Yesu kyeyava abonaabonera ebweru wa wankaaki w'ekibuga, alyoke atukuze abantu n'omusaayi gwe.
13
Kale tufulume, tugende gy'ali ebweru w'olusiisira, tuswale wamu naye.
14
Kubanga ku nsi kuno tetulinaako kibuga kya lubeerera, wabula tunoonya ekyo ekigenda okujja.
15
Kale tuweeyo eri Katonda ekitambiro eky'okumutenda, nga tukiyisa mu Yesu, nga twatula erinnya lye n'emimwa gyaffe.
16
Era temwerabiranga okukola obulungi n'okuyambagana. Ebyo bye bitambiro ebisanyusa Katonda.
17
Muwulirenga abakulembeze bammwe, era mubagonderenga, kubanga be balabirira emyoyo gyammwe, nga ba kugibuuzibwa. Mubasobozese okukikolanga n'essanyu, sso si na buwaze, kubanga ekyo tekiribaako kye kigasa mmwe.
18
Mutusabirenga, kubanga tumanyi nti tulina omwoyo omulungi era twagala okukola obulungi mu buli kimu.
19
Era mbeegayirira okunsabiranga ennyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli.
20
Kale Katonda ow'emirembe, eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w'endiga omukulu, olw'endagaano eteggwaawo, eyanywezebwa n'omusaayi gwe,
21
abawe buli kirungi kyonna, mulyoke mukolenga by'ayagala, Katonda oyo akolere mu ffe by'asiima, ng'abiyisa mu Yesu Kristo, asaanidde okuweebwa ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
22
Abooluganda, mbasaba mugumiikirize bye mbabuuliridde, kubanga ebbaluwa eno gye mbawandiikidde, si mpanvu.
23
Mbategeeza nti muganda waffe Timoteewo yateebwa. Era bw'alijja amangu, aliba wamu nange lwe ndibalaba mmwe.
24
Mulamuse abakulembeze bammwe bonna, n'abantu ba Katonda bonna. Ab'omu Yitaliya babalamusizza.
25
Katonda abakwatirwenga ekisa mmwe mwenna. Amiina.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
Recommended Reading
Commentary
Hebrews Commentaries
→
Devotional
Hebrews Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→