bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hosea 1
Hosea 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
1
Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Hoseya, mutabani wa Beeri, mu mirembe gya Wuzziya, n'egya Yotamu, n'egya Ahazi ne Heezeekiya, bassekabaka ba Buyudaaya, ne mu mirembe gya Yerobowaamu, mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Yisirayeli. 2 Byom 26:1–27:8; 28:1–32:33
2
Mukama bwe yatandika okwogera n'Abayisirayeli ng'ayita mu Hoseya, yagamba Hoseya nti: “Genda owase omukazi atali mwesigwa, omuzaalemu abaana, kubanga abantu bange banvuddeko, nze Mukama, tebakyali beesigwa.”
3
Awo Hoseya n'agenda, n'awasa omukazi ayitibwa Gomeri, muwala wa Dibulayimu. Gomeri n'aba olubuto, n'azaalira Hoseya omwana ow'obulenzi.
4
Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya Yezireeli, kubanga ebulayo ekiseera kitono, mbonereze ab'ennyumba ya Yeehu olw'abantu Yeehu be yattira e Yezireeli. Era ŋŋenda kukomya obwakabaka bwa Yisirayeli.
5
Era mu kiseera ekyo, ndisaanyaawo ebyokulwanyisa bya Yisirayeli mu kiwonvu kya Yezireeli.”
6
Gomeri era n'aba olubuto, n'azaala omwana wa buwala, Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya ‘Takwatirwakisa’, kubanga Abayisirayeli sikyabakwatirwa kisa, wadde okubasonyiwa.
7
Naye ndikwatirwa ekisa ab'omu Buyudaaya. Nze Mukama Katonda waabwe, ndibawonya akabi, naye nga tewali kukozesa mutego gwa busaale na kitala, wadde embalaasi n'abazeebagadde; tewaliba lutalo.”
8
Gomeri bwe yamala okuggya Takwatirwakisa ku mabeere, era n'aba olubuto nate. N'azaala omwana wa bulenzi.
9
Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya ‘Sibantubange’, kubanga mmwe temuli bantu bange, nange siri Katonda wammwe.”
10
Abayisirayeli baliba bangi ng'omusenyu ogw'ennyanja, ogutayinza kupimibwa, wadde okubalibwa. Kaakano Katonda abagamba nti: “Temuli bantu bange.” Naye olunaku lulituuka n'abagamba nti: “Muli baana ba Katonda Nnannyinibulamu.”
11
Abantu ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yisirayeli balyegatta wamu, era balyerondera omukulembeze omu. Baliddamu okukulaakulana n'okuba obulungi mu nsi yaabwe, kubanga olunaku lwa Yezireeli luliba lukulu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
Recommended Reading
Commentary
Hosea Commentaries
→
Devotional
Hosea Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→