bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hosea 10
Hosea 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 11 →
1
Abayisirayeli bali ng'omuzabbibu ogubala ennyo. Gye baakoma okweyongera obungi, gye baakoma n'okuzimba zaalutaari. Ensi yaabwe gye yakoma okweyongera okuba ennungi, gye baakoma n'okulungiya empagi ez'amayinja ze basinza.
2
Emitima gyabwe tegitereera ku kimu. Kale kaakano bajja kubonaabona olw'ebibi byabwe. Katonda ajja kumenyawo zaalutaari zaabwe, era azikirize n'empagi ez'amayinja ze basinza.
3
Banaatera okugamba nti: “Tetulina kabaka, kubanga tetutya Mukama. Naye kabaka kiki ky'ayinza okutukolera?”
4
Boogera bigambo bugambo, ne balayira eby'obulimba mu kukola endagaano. Ensala y'emisango eyonoonese, n'eba ng'omuddo ogw'obutwa, ogumera ku mbibiro z'ennimiro.
5
Ab'e Samariya balitya, era balikungubaga olw'okuviibwako ennyana eya zaabu ey'e Betaveni. Bo awamu ne bakabona abagisinza, baligikaabira. Baliwuubaala bw'eriggyibwako ekitiibwa kyayo.
6
Nayo eritwalibwa mu Assiriya, okuba ekirabo kya kabaka omukulu. Abayisirayeli balikwatibwa ensonyi ne baswala, olw'amagezi ge baagoberera.
7
Kabaka w'e Samariya alitwalibwa ng'ekibajjo ky'omuti bwe kitwalibwa ku mazzi.
8
N'ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, Abayisirayeli gye basinziza ebifaananyi, birizikirizibwa. Amaggwa n'omuddo birimera ku zaalutaari zaabwe. Baligamba ensozi nti: “Mutubuutikire!” n'obusozi nti: “Mutugweko!”
9
Mukama agamba nti: “Abayisirayeli tebalekangayo kukola bibi, okuviira ddala mu kiseera kye baakoleramu ebibi e Gibeya. Kale olutalo lulibakwatira e Gibeya.
10
Ndirumba abantu bano aboonoonyi, ne mbabonereza. Amawanga galikuŋŋaanyizibwa okubalwanyisa, era balibonerezebwa olw'ebibi byabwe ebingi.
11
“Yisirayeli edda yali ng'ente ennyana eyigiriziddwa obulungi, eyagala okusamba eŋŋaano. Naye nasalawo okumuteeka ekikoligo mu bulago bwe obulungi, mmukozese emirimu egy'amaanyi. Ab'omu Buyudaaya balikabala, ab'omu Yisirayeli balikuba amavuunike.
12
Nagamba nti: ‘Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, musige obutuukirivu, mukungule emikisa eginaava mu kunjagala. Kino kye kiseera mmwe okudda gye ndi nze Mukama. Nja kujja mbayiweko emikisa eginaabalokola.’
13
Naye musize ekibi ne mukungula ebibala byakyo. Mulidde ebibala eby'obulimba bwammwe, kubanga mwesiga amagaali gammwe, n'abatabaazi bammwe abangi.
14
N'olwekyo olutalo lulisasamaza abantu bammwe, era ebigo byammwe byonna birizikirizibwa. Kiriba nga bwe kyali, Kabaka Salumaani bwe yazikiriza ekibuga Betirarubeeli mu lutalo, abakazi ne battibwa wamu n'abaana baabwe.
15
Bwe kityo bwe kiriba ne ku mmwe abantu b'e Beteli, olw'ebibi byammwe ebyenkanidde awo obungi. Olutalo luliba lwakatandika, kabaka wa Yisirayeli alisaanyizibwawo.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14