bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hosea 6
Hosea 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
1
Abantu bagamba nti: “Mujje tudde eri Mukama, kubanga ye yatutaagulataagula, era ye alituwonya, ye yatufumita, era ye alitunyiga ebiwundu.
2
Mu nnaku bbiri oba ssatu alituzzaamu obulamu ne tubeera balamu mu maaso ge.
3
Tufube okumanya Mukama. Ajja kujja gye tuli awatali kubuusabuusa, ng'olunaku bwe lukya era ng'enkuba esooka mu mwaka bw'efukirira ettaka.”
4
Naye Mukama agamba nti: “Yisirayeli ne Buyudaaya nnaabakola ntya mmwe? Kubanga okwagala kwe munjagalamu, kuggwaawo mangu ng'olufu lw'oku makya, era ng'omusulo oguggwaawo, nga bukyali nkya.
5
Kyennaavanga ntuma abalanzi bange gye muli n'obubaka obubalumiriza omusango, era obubazikiriza. Kye mbaagaza kimanyiddwa bulungi.
6
Njagala kisa, sso si bitambiro. N'okumanya Katonda, kusinga ebitone ebyokebwa.
7
“Naye nabo nga Adamu, baamenya endagaano gye nakola nabo.
8
Gileyaadi kibuga ky'abo abakola ebibi era kijjudde ebitaba by'omusaayi.
9
Bakabona bali ng'ekibinja ky'abanyazi abateega omuntu. Batemulira abantu mu kkubo erigenda a Sekemu. Ddala bakola ebiswaza.
10
Ndabye eky'ekivve mu Yisirayeli: Abayisirayeli si beesigwa era boonoonese.
11
Era nammwe ab'omu Buyudaaya, ntaddewo ekiseera eky'okubabonererezaamu olw'ebyo bye mukola.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14