bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hosea 12
Hosea 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 13 →
1
“Abayisirayeli bagoba mpewo olunaku lwonna, bawondera mbuyaga y'ebuvanjuba. Beeyongera kukola bya bulimba na bya bukambwe. Bakola endagaano ne Assiriya, era batwala omuzigo mu Misiri.”
2
Mukama alina ky'avunaana abantu ab'omu Buyudaaya, era ajja kubonereza Yisirayeli, olw'engeri abantu baayo gye beeyisaamu. Ajja kubasasula olw'ebyo bye bakola.
3
Jjajjaabwe Yakobo yalwana ne muganda we Esawu, nga bakyali mu lubuto lwa nnyaabwe. Yakobo bwe yakula, n'alwanyisa Katonda.
4
Yalwana ne malayika, n'awangula. Yakaaba n'asaba okumuwa omukisa. E Beteli, Katonda yasisinkana Yakobo, era eyo gye yayogerera naffe.
5
Mukama, Katonda Omuyinzawaabyonna, erinnya lye ye Mukama.
6
Kale mmwe bazzukulu ba Yakobo, mukyuke mudde eri Mukama, era mumwesige. Mubeerenga ba kisa era ba mazima. Bulijjo mwesigenga Katonda wammwe.
7
Mukama agamba nti: “Abayisirayeli si beesigwa. Bali ng'omusuubuzi akozesa minzaani eteri ntuufu, ayagala okunyaga.
8
Bagamba nti: ‘Tuli bagagga, twefunidde ebintu. Tewali ayinza kutulumiriza nti twagaggawala mu bukumpanya.’
9
Naye nze Mukama, Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndiddamu okubasuza mu nsiisira, nga ze mwalimu, bwe najja gye muli mu ddungu.
10
“Nayogeranga n'abalanzi, era ne mbongera okulabikirwa, era ne ndabula abantu bange, nga mpita mu balanzi.
11
Abakola ebibi mu Gilugaali, gye basalira ente ennume ez'ebitambiro, zaalutaari zaabwe zirifuuka ng'entuumu z'amayinja ku mbibiro z'ennimiro.”
12
Yakobo yaddukira mu nsi ya Aramu. Era okusobola okuwasaayo omukazi, yakolera omuntu omulala, n'amulundira endiga ze.
13
Mukama yatuma omulanzi okuggya Abayisirayeli mu buddu mu Misiri, n'okubalabirira.
14
Abayisirayeli basunguwazizza nnyo Mukama. Basaanira kufa, olw'emisango gye bazza. Mukama alibabonereza olw'okumunyooma.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14