bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hosea 7
Hosea 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
1
“Buli lwe njagala okuwonya abantu bange Abayisirayeli, kye ndaba gye misango gye bazza, n'ebibi ab'omu Samariya bye bakola. Bakolera ku bulimba. Bayingira mu mayumba ne babba, era n'ebweru banyaga ku bantu ebintu mu makubo.
2
Tebakirowoozaako nti mmanyi ebibi byabwe byonna, sso ng'ebikolwa byabwe bibeetoolodde, era nga babikola mbiraba.”
3
Mukama agamba nti: “Abantu basanyusa kabaka nga bakuusakuusa, era basanyusa abakungu be nga babalimbalimba.
4
Bonna ba nkwe, era si beesigwa. Bali ng'akabiga akakumibwa omufumbi w'emigaati, akateetaaga kuseesaamu, okuva lw'amala okugoya obutta, okutuusa lwe buzimbulukuka.
5
Ku lunaku kabaka lw'akola embaga, abanyoomi abo basiruwaza kabaka n'abakungu be, nga babatamiiza omwenge era nabo ne gubakwata.
6
Ddala bengerera ng'akabiga nga bateesa okukola akabi. Obusungu bwabwe bwaka mpolampola ekiro kyonna, ku makya ne bubuubuuka.
7
Mu bbugumu ery'obusungu bwabwe, batemula abafuzi baabwe. Bakabaka baabwe bonna battiddwa, naye tewali muntu n'omu ansaba buyambi.”
8
Mukama agamba nti: “Abayisirayeli bali ng'omugaati oguyiddeko oluuyi olumu. Beetaba n'ab'amawanga amalala,
9
ne batamanya ng'okwetaba n'abagwira kubamalamu amaanyi, era ng'eggwanga lyabwe lizikirira.
10
Okwekulumbaza kw'Abayisirayeli kwe kubalumiriza. Newaakubadde ebyo byonna bibaddewo, naye tebakomyeewo gye ndi nze Mukama, Katonda waabwe.
11
Yisirayeli ali ng'ejjiba essirusiru eritalina magezi: abantu be, beegayirira Misiri abayambe, ate ne baddukira eri Assiriya.
12
Naye buli gye baddukira, nja kubatega ekitimba kyange, mbakwase ng'ebinyonyi. Nja kubabonereza olw'ebibi byabwe.
13
“Zibasanze, kubanga bawabye ne banvaako. Ka bazikirire, kubanga banjeemedde. Nayagala okubanunula, naye banjogerako bya bulimba.
14
Tebaneegayiridde mu mazima, naye beekulukuunya ku ttaka ne bakaaba. Bettanira ŋŋaano na mwenge, ne banjeemera.
15
Newaakubadde nga nze nabagunjula era ne mbawa amaanyi, naye era banneekobera.
16
Badda eri ebyo ebitali Katonda. Bali ng'omutego omukyamu oguteesigika. Abakungu baabwe balittibwa olw'okwogera nga beewaana. Era balisekererwa mu nsi y'e Misiri.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14