bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hosea 8
Hosea 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 9 →
1
Mukama agamba nti: “Mufuuwe eŋŋombe! Abalabe bajja ng'empungu okulumba ensi yange, kubanga abantu bange bamenye endagaano gye nakola nabo, era bajeemedde amateeka gange.
2
Wadde balimpita Katonda waabwe, ne bagamba nti: ‘Ffe Abayisirayeli tukumanyi’,
3
naye bagaanye ekirungi. N'olwekyo abalabe baabwe balibayigganya.
4
“Bataddewo bakabaka, naye nga tebakikola ku lwange. Balonze abakulembeze nga tebantegeezezza. Baddidde ffeeza ne zaabu waabwe ne bakola ebifaananyi ebinaabaviirako okuzikirira.
5
Nkyawa ente ennume eya zaabu, ab'omu Samariya gye basinza. Mbasunguwalidde. Balikoma ddi okwonoona?
6
Kubanga omukozi Omuyisirayeli ye yakola ekifaananyi ekyo, n'olwekyo ekifaananyi ekyo si Katonda n'akatono. Ente ennume eya zaabu, ab'omu Samariya gye basinza, eribetentebwa.
7
Baasiga mpewo, balikungula mbuyaga. Eŋŋaano etebaze, tevaamu mmere. Ne bw'eriba ebaze, ab'amawanga amalala baligirya.
8
“Yisirayeli efuuse ng'amawanga amalala, era tekyagasa: eri ng'ekibya ekyatise.
9
Kubanga Abayisirayeli bagenze mu Assiriya okusaba obuyambi. Bali ng'entulege eyeewaggula, etambula yokka. Baguliridde ab'amawanga amalala okubakuuma.
10
Kale nja kubakuŋŋaanyiza wamu mbabonereze, era banaatera okukaaba, kabaka w'Abassiriya bw'anaabanyigiriza.
11
“Abayisirayeli gye bakoma okuzimba emyaliiro olw'okuggyawo ebibi, gye bakoma okwonoona.
12
Newaakubadde mbawandiikira amateeka gange agatabalika olw'obungi, bagagaana ng'ekintu ekigwira.
13
Banyumirwa okumpa ebitambiro. Batambira ensolo, ne balya ennyama ey'ebitambiro ebyo. Naye nze Mukama sibasanyukira, era kaakano, nja kujjukira ebibi byabwe mbabonereze olw'ebibi ebyo. Bajja kuddayo mu Misiri!
14
“Abayisirayeli bazimbye amayumba, naye beerabidde eyabatonda. Ab'omu Buyudaaya bongedde okuzimba ebibuga ebiriko ebigo. Naye nja kusindika omuliro gwokye ebibuga byabwe n'ebigo byabwe.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14