bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hosea 9
Hosea 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 10 →
1
Abayisirayeli muleme kusanyuka ng'ab'amawanga amalala, kubanga mweggye ku Katonda wammwe, ne mutaba beesigwa gy'ali. Mwetunze nga bamalaaya eri lubaale Baali, era mwagadde eŋŋaano ku buli gguuliro, nga gye mubala nti ye mpeera gy'abasasudde.
2
Naye egguuliro n'essogolero binaatera obutabawa kimala, n'omwenge omusu gunaatera okubaggwaako.
3
Abayisirayeli tebajja kusigala mu nsi ya Mukama, naye bajja kuddayo mu Misiri, era banaaliiranga mu Assiriya emmere eteri nnongoofu.
4
Mu nsi ezo engwira, tebaasobolenga kutona mwenge eri Mukama, wadde okuleeta ebitambiro byabwe gy'ali. Emmere gye banaalyangako, eneebafuulanga abatali balongoofu, ng'emmere eriirwa awali omufu. Banaagiryanga kukkuta bukkusi, teetwalibwengako kuweebwayo ng'ekirabo mu Ssinzizo lya Mukama.
5
Mulikola ki ku lunaku olukulu, olunaku olw'Embaga ya Mukama?
6
Okuzikirira bwe kulituuka, abantu ne basaasaana, Abamisiri balibakuŋŋaanya, ne baziikibwa abatuuze b'e Ninfiisi. Ebyobugagga byabwe ebya ffeeza ebisanyusa, n'eweema zaabwe, birimeramu omuddo n'amaggwa ne bizika.
7
Ekiseera eky'okubonererezaamu kituuse. Kye kiseera, abantu mwe banaafunira ekibagwanira, era Yisirayeli ajja kukimanya. Mujja kugamba nti: “Omulanzi musirusiru. Omusajja ono afuuyirirwa mwoyo, alaluse.” Mugamba bwe mutyo, kubanga ekibi kyammwe kinene, era obukyayi bwammwe bungi.
8
Nze mulanzi, Katonda gw'atumye okulabula abantu be Abayisirayeli. Naye buli we ndaga, bantega emitego, ng'abatega ekinyonyi. Ne mu nnyumba yennyini eya Katonda, abantu balabe ba mulanzi.
9
Beeyonoonye nnyo, nga bwe beeyonoona e Gibeya. Katonda alijjukira okwonoona kwabwe, n'ababonereza olw'ebibi byabwe.
10
Mukama agamba nti: “Nasanga Yisirayeli, ng'asanga emizabbibu egikulira mu ddungu. Nalaba bajjajjammwe, ng'alaba ebibala by'omutiini ebisooka okwengera mu mwaka. Naye bwe baatuuka ku Lusozi Pewori, ne batandika okusinza Baali, ne bafuuka ekyenyinyalwa, nga balubaale be baayagala.
11
Ekitiibwa kya Yisirayeli kiribuuka mu bbanga, ne kigenda ng'ekinyonyi: tewaliba baana bazaalibwa, wadde abakazi abali embuto, wadde abazifuna.
12
Naye ne bwe balizaala abaana, era ndibabaggyako, ne batasigazaawo mulamu. Abantu bano bwe ndibavaako, ziribasanga!”
13
Ndaba abaana ba Yisirayeli nga bayiggibwa ne battibwa.
14
Ayi Mukama, kiki kye mba nkusaba okolere abantu bano? Leka bakazi baabwe baveemu embuto, era okaze amabeere gaabwe.
15
Mukama agamba nti: “Baatandikira Gilugaali okukola ebibi. Eyo gye natandikira okubakyawa. Ndibagoba mu nsi yange olw'ebibi bye bakoze. Siriddayo kubaagala. Abakulembeze baabwe bonna bajeemu.
16
Abayisirayeli bali ng'omuti ogutemeddwa ne gukala emirandira, ogutakyabala bibala. Tebalizaala baana. Naye ne bwe balizaala, nditta abaana baabwe abaagalwa.”
17
Katonda wange aliboola abantu be, kubanga tebamuwulira. Baliba babungeese mu mawanga.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14