bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hosea 5
Hosea 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
1
“Muwulire kino mmwe bakabona, muwulirize mmwe Abayisirayeli. Mutege amatu mmwe ab'ennyumba ya kabaka. Musaliddwa omusango okubasinga mmwe, kubanga mwafuuka omutego e Mizupa, n'ekitimba ekyategebwa ku Lusozi Tabori,
2
era mwafuuka obuya obwasimibwa e Sittimu. Naye ndibabonereza mwenna.
3
Mmanyi Yisirayeli nga bw'afaanana, tayinza kunkisibwa. Yisirayeli akoze eby'obutali bwesigwa era ayonoonese.”
4
Ebikolwa byabwe tebibaganya kudda eri Katonda waabwe, kubanga balimu omwoyo ogw'obutali bwesigwa, era tebamanyi Mukama.
5
Okwekulumbaza kw'Abayisirayeli kubalumiriza. Baligwa olw'ebibi byabwe, era n'abantu b'omu Buyudaaya baligwa wamu nabo.
6
Bwe baligenda okunoonya Mukama baweeyo ebitambiro byabwe eby'endiga n'ente, tebalimuzuula, kubanga abavuddeko.
7
Tebabadde beesigwa eri Mukama, era bazadde abaana abatali babe. Kale kaakano bajja kuzikirizibwa mangu awamu n'ennimiro zaabwe.
8
Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya, n'ekkondeere mu Raama! Mulaye eŋŋoma mu Betaveni, muyite Benyamiini mu lutalo.
9
Yisirayeli alisigala matongo ku lunaku olw'okuweerako ekibonerezo. Nnangirira mu bika bya Yisirayeli nti ebyo bigenda kutuukirira.
10
Mukama agamba nti: “Abakungu ba Buyudaaya banyaze ebitundu bya Yisirayeli, ne bakyusa ensalo zaayo. Nja kubayiwako obusungu bwange, ng'abayiwako amazzi.
11
Yisirayeli anyigirizibwa n'anyagibwako ebitundu bye, kubanga yakkiriza okukolera ku kiragiro eky'abo abatandimulagidde.
12
Kyennaava nsanyaawo Yisirayeli, era ne mmalirawo ddala abantu b'omu Buyudaaya.
13
“Yisirayeli bwe yalaba ng'alwadde, ne Buyudaaya bwe yalaba ebiwundu bye, Yisirayeli n'alaga mu Assiriya okusaba kabaka waayo amuyambe. Kyokka tayinza kubavumula, wadde okuwonya ebiwundu byabwe.
14
Kubanga ndiba ng'empologoma, nnumbe Yisirayeli ne Buyudaaya. Nze mwene ndibataagulataagula ne nvaawo. Bwe ndiba nga mbawalabanya, tewaliba abawonya.
15
Ndibaabulira, ne nzirayo gye mbeera, okutuusa lwe balikkiriza ensobi yaabwe ne bannoonya. Bwe balibonaabona, balifuba okunnoonya.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14