bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hosea 4
Hosea 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 5 →
1
Abayisirayeli muwulire Mukama ky'agamba, kubanga Mukama alina ky'avunaana abantu abali mu nsi eno. Tewali mazima wadde ekisa, era abantu tebamanyi Katonda mu nsi eno.
2
Ekiriwo kwe kukolima, okulimba, okutemula, okubba n'okwenda. Okuzza emisango kweyongera bweyongezi era obutemu buddirira butemu.
3
Ensi kyeriva ekala, na buli kiramu ekigiriko ne kifa. Ensolo zonna n'ebinyonyi n'ebyennyanja birifa.
4
Mukama agamba nti: “Waleme kubaawo n'omu avunaana bantu, wadde abanenya. Be nvunaana ye mmwe bakabona.
5
Mukola ensobi emisana n'ekiro, n'abalanzi nabo kye bakola nga mmwe. Nja kuzikiriza Yisirayeli nnyammwe.
6
Abantu bange bazikirizibwa, olw'obutamanya. Mmwe bakabona nga bwe mugaanye okummanya, nange ndibagaana okuba bakabona bange. Era nga bwe mwerabidde amateeka gange, nze Katonda wammwe, nange ndyerabira abaana bammwe.
7
“Bakabona gye bakoma okweyongera obungi, gye bakoma n'okwonoona mu maaso gange. Ekitiibwa kyabwe ndikifuula ensonyi.
8
Bagaggawalira ku bibi by'abantu bange, kyebava baagala abantu beeyongere okwonoona.
9
Ng'abantu bwe bali, ne bakabona bwe baliba. Ndibabonereza olw'empisa zaabwe, mbasasuze olw'ebikolwa byabwe.
10
Balirya naye tebalikkuta, balyenda naye tebalyala, kubanga banvuddeko nze Mukama, okusinza balubaale.”
11
Mukama agamba nti: “Omwenge omukulu n'omusu, gumalawo okutegeera.
12
Abantu bange beebuuza ku kitiititi, omuggo gwabwe gwe gubabuulira kye baagala okumanya. Bakoze ng'omukazi omwenzi: banvuddeko nze Katonda waabwe, ne beewaayo mu balubaale.
13
Basalira ebitambiro ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emiti emiwanvu n'emyagaagavu, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi. “Abaana bammwe abawala kyebava beefuula bamalaaya, ne bakazi bammwe ne benda.
14
Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula bamalaaya, wadde bakazi bammwe bwe beefuula abenzi, kubanga mmwe mwennyini mudda wabbali awamu n'abakazi bamalaaya ab'omu masabo, ne muweerayo wamu nabo ebitambiro. Abantu abatategeera balizikirira.
15
“Newaakubadde mmwe Abayisirayeli temuli beesigwa gye ndi, naye ab'omu Buyudaaya baleme kusobya nga mmwe. Temusinzizanga Gilugaali, wadde e Betaveni. Era temulayiranga nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu.’
16
Abayisirayeli babambaavu ng'ente enduusi. Kale nze Mukama nnaabaliisa ntya ng'omwana gw'endiga mu ddundiro eggazi?
17
Abayisirayeli basikiriziddwa okusinza ebitali Katonda. Kale basigale nga bwe bali.
18
Bwe bamala okutamiira, beemalira mu bwenzi. Baagala ensonyi okusinga bwe baagala ekitiibwa.
19
Balitwalibwa embuyaga, era balikwatibwa ensonyi olw'ebitambiro byabwe.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14