bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hosea 11
Hosea 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
1
Mukama agamba nti: “Yisirayeli bwe yali ng'akyali mwana muto, namwagala, ne mmuyita okuva e Misiri, nga mwana wange.
2
Naye gye nakoma okubayita, gye baakoma okunvaako. Baawaayo ebitambiro eri Baali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole.
3
Sso nga nze nayigiriza Yisirayeli okutambula. Nabawambaatira mu mikono gyange, naye tebaategeera nga nze nabalabirira.
4
Nabasika n'ekisa era n'okwagala bajje gye ndi. Nabasitula ne mbawambaatira ng'awambaatira omwana omuto, nakutama ne mbaliisa.
5
“Baliddayo mu nsi y'e Misiri, era Assiriya ye alibafuga, kubanga baagaana okudda gye ndi.
6
Olutalo luligwa mu bibuga byabwe, ne lumenya enzigi zaabyo, ne lubazikiriza, kubanga baakola ebyo bo bennyini bye baagala.
7
Abantu bange bamaliridde okunvaako. Balikaaba olw'ekikoligo ekibaliko, naye tewaliba akibaggyako.
8
“Nnaakuwaayo ntya Yisirayeli? Nnaakwabulira ntya? Nnaakuzikiriza ntya nga bwe nazikiriza Aduma, wadde okukuyisa nga bwe nayisa Zeboyiimu? Omutima gwange teguŋŋanya kukikola, kubanga mpulira nkwagala nnyo.
9
“Sirikubonereza nga nsunguwadde. Siriddayo kuzikiriza Yisirayeli, kubanga ndi Katonda sso si muntu. Nze Omutuukirivu ndi wamu naawe. Sirijja gy'oli nga nsunguwadde.
10
“Abantu bange balingoberera nze Mukama, bwe ndiwuluguma ng'empologoma. Balyanguwa okujja gye ndi, nga bava ebugwanjuba.
11
Baliva mu Misiri, nga banguwa ng'ebinyonyi, era ng'ejjiba, nga bava mu Assiriya, era ndibazzaayo mu maka gaabwe. Nze Mukama nze njogedde.”
12
Mukama agamba nti: “Abayisirayeli banneetooloozezza obulimba n'obukuusa. Naye abantu b'omu Buyudaaya nkyabamanyi nze Katonda, era beesigwa gye ndi nze Omutuukirivu.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14