bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hosea 13
Hosea 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 14 →
1
Ab'omu kika kya Efurayimu bwe baayogeranga, ab'omu Bika ebirala mu Yisirayeli baakankananga. Abeefurayimu baatiibwanga. Naye nga bwe baayonoona nga basinza Baali, bajja kufa.
2
Era kaakano beeyongera bweyongezi okwonoona, nga bakola mu byuma ebisaanuuse, ebifaananyi nga bya kusinza. Bakola ebifaananyi mu ffeeza, ebiyiiyizibwa amagezi g'abantu, era ebikolebwa abantu. Awo ne balyoka bagamba nti: “Mubiwe ebitambiro.” Abantu bayinza batya okunywegera ebifaananyi bino eby'ennyana?
3
N'olwekyo abantu bano, baliggwaawo nga kalenge ow'oku makya, era ng'omusulo oguggwaawo nga bukyali nkya. Baliba ng'ebisusunku, embuyaga y'akazimu by'eggya mu gguuliro n'ebitwala, era ng'omukka, oguyita mu kituli, ne gufuluma.
4
Mukama agamba nti: “Nze Mukama, Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. Temulina Katonda mulala, wabula nze. Nze Mulokozi wammwe nzekka.
5
Nabalabirira nga muli mu nsi enkalu ey'eddungu.
6
Naye bwe mwayingira mu nsi ennungi, ne mulya ne mukkuta, olwo mwekulumbaza ne munneerabira.
7
Kale ndibalumba ng'empologoma bw'erumba. Ndibateega mu kkubo ng'engo bw'eteega.
8
Ndibalumba ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo, ne mbayuzaamu. Ndibataagulataagula ng'ensolo ey'omu ttale, era ndibaliirawo ng'empologoma.
9
“Ndibazikiriza mmwe Abayisirayeli. Ani aliyinza okuyamba?
10
Mwasaba okubawa kabaka n'abakulembeze. Naye banaayinza batya okubawonya mmwe?
11
Nabawa bakabaka nga nsuguwadde, era ne mbabaggyako nga ndiko ekiruyi.
12
“Ekibi n'omusango ebya Yisirayeli bisibiddwako era biterekeddwa.
13
Yisirayeli aweereddwa omukisa abe mulamu, naye talina magezi kugukozesa. Ali ng'omwana atuusizza okuzaalibwa, agaana okufuluma mu lubuto lwa nnyina.
14
Sirinunula bantu bano mu magombe, wadde okubawonya okufa. Ggwe Walumbe, leeta ebibonyoobonyo byo!
15
Abayisirayeli ne bwe baliba obulungi mu baganda baabwe, nze Mukama ndisindika embuyaga ey'ebuvanjuba eva mu ddungu, n'ekaza ensulo zaabwe n'enzizi zaabwe. Erimalawo ebyobugagga byonna bye baatereka.
16
Ab'omu Samariya bajja kubonerezebwa olw'okujeemera nze Katonda waabwe. Bajja kufiira mu lutalo. Abaana baabwe abawere bajja kutirimbulwa, n'abakazi abali embuto bajja kubaagibwa.”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
Recommended Reading
Commentary
Hosea Commentaries
→
Devotional
Hosea Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→