bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ecclesiastes 1
Ecclesiastes 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 2 →
1
Ebigambo bya Koweleti, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yeruzaalemu.
2
Temuli kantu, temuli kantu, Koweleti bw'agamba; temuli yadde akantu, byonna temuli kantu!
3
Magoba ki omuntu g'aggya mu kutegana kwe kwonna kw'ateganamu wansi w'enjuba?
4
Amazadde gagenda, amazadde ne gajja, naye ensi yo esigalawo emirembe gyonna.
5
Enjuba evaayo, enjuba n'egwa, n'eddayo mangu mu kifo kyayo.
6
Empewo efuuwa ng'eraga emaserengeta, n'ekyusa ng'edda emambuka; empewo egenda yeetooloola nga bwedda mu kisinde kyayo.
7
Emigga gyonna gikulukutira mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gisibuka, eyo gye gidda nate.
8
Ebintu byonna bikooya, omuntu tayinza kubittottola. Eriiso terikkuta kulaba, n'okutu tekujjula kuwulira.
9
Ekyaliwo kiriddamu okubaawo, n'ekyakolebwa kiriddamu okukolebwa; wansi w'enjuba teri kiggya,
10
Waliwo oli ky'ayinza okwogerako nti: “Kino kiggya?” Kyaliwo dda mu mirembe giri, kyaliwo nga tetunnabaawo.
11
Ebyasooka tebijjukirwa, naye n'ebyo ebiribeerawo gye bujja, nabyo tebirijjukirwa abo abalijja.
12
Nze Koweleti nali kabaka wa Yisirayeli mu Yeruzaalemu;
13
neefubirira okunoonya n'okwekenneenya n'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu. Omugugu Katonda gwe yabinika abaana b'abantu bakole, nga muzibu!
14
Ndabye ebikolwa byonna ebikolebwa wansi w'enjuba; naye byonna temuli kantu, kugoba mpewo buwewo.
15
Ekyewese tekisoboka kugololwa, n'ekibulawo tekisoboka kubalibwa.
16
Nagamba mu mutima gwange nti: “Wuuno neeyongedde ne ntutumuka mu magezi okusinga bonna abankulembera okufuga mu Yeruzaalemu; ndabye bingi eby'amagezi n'okumanya.”
17
Awo kwe kwefubirira ku ky'okumanya amagezi era ne ku ky'okumanya obulalulalu n'obutamanya. Kyokka nategeera nti yadde na bino, kugoba mpewo buwewo.
18
Kubanga ku magezi amangi kujjirako obuyinike nkumu, n'okumanya gye kweyongera, n'ennaku gy'ekoma.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12