bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ecclesiastes 12
Ecclesiastes 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
1
Jjukira Omutonzi wo mu nnaku z'obuvubuka bwo, ng'ennaku ez'obuyinike tezinnajja, nga n'emyaka teginnatuuka w'oligambira nti: “Tebinsanyusa!”
2
Ng'enjuba, ekitangaala, omwezi n'emmunyeenye tebinnazaama, n'ebire nga tebinadda oluvannyuma lw'enkuba;
3
ku lunaku abakuumi b'ennyumba lwe balijugumira, n'abasajja abazira ne babenduka; abakazi abasa eŋŋano lwe balikoma okusa kubanga batono, n'abalabira mu bumooli ng'amaaso gabafumye;
4
emiryango gy'amakubo lwe giriggalwa, n'eddoboozi ly'olubengo olusa eŋŋano nga ligwekeredde; abantu lwe balizuukuka ku kukaaba kw'ennyonyi, ne bawala b'oluyimba nga basirise;
5
abantu lwe balitya obusozi, n'obubenje mu kkubo; emiti gy'endoozi nga gyanyizza, n'enzige nga zibwegedde, n'eppiripiri ng'atulise; olwo omuntu ng'agenda mu nnyumba ye ey'emirembe gyonna, abakungubazi nga beetala mu nguudo;
6
ng'ekifundikwa ekya ffeeza tekinnakutulwa, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnayasibwa, n'ensumbi nga tennayatikira mugga, ne nnamuziga nga tennamenyekera ku luzzi,
7
n'enfuufu nga tennadda ku ttaka kwe yava, n'omwoyo nga tegunnadda eri Katonda eyaguwa.
8
Temuli kantu, temuli kantu, Koweleti bw'agamba, byonna temuli kantu!
9
Ng'oggyeeko eky'okubeera omugezi, Koweleti yayigiriza abantu okumanya; yatetenkanya ng'anoonyereza, n'atereeza engero nnyingi.
10
Koweleti yanoonyereza okuzuula ebigambo ebisanyusa, n'awandiika ebigambo ebituufu eby'amazima.
11
Ebigambo by'abagezi biba ng'ekikato, ne bye baayogera ebikuŋŋaanyiziddwa, ebyaweebwa omusumba omu, biri ng'enninga enkomerere.
12
Weegendereze, mwana wange, singa byongerwako; okuwandiika ebitabo ebingi si kwa kukoma, n'okunoonyereza okuyitiridde kukooya omubiri.
13
Emboozi k'ekome wano; byonna bimaze okuwulirwa. Tya Katonda, kwata ebiragiro bye, kubanga kino kya buli muntu.
14
Kubanga buli kikolwa Katonda alikiramula, nga mw'otwalidde n'ebyo ebikwekeddwa, bibeere birungi oba bibi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12