bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ecclesiastes 4
Ecclesiastes 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 5 →
1
Nakyuka ne ndaba okunyigiriza okukolebwa wansi w'enjuba; amaziga g'abanyigiriziddwa, nga mpaawo akubagiza; eryanyi liri n'abanyigiriza, tewali akubagiza.
2
Ne neesiimisa abafu abaamala edda okufa, nti ba mukisa okusinga abo abakyali abalamu.
3
Naye akyasinza na bano bombi omukisa y'oyo atannazaalibwa, atannalaba ku bikolwa bibi ebikolebwa wansi w'enjuba.
4
Ne ndaba nti emirimu n'amagoba g'okutegana biva mu kukwatiraganirwa buggya. Ne mu kino era temuli kantu, kugoba mpewo buwewo.
5
Omusiru azinga emikono gye, ne yeegoogombya.
6
Olubatu mu ddembe lukira embatu zombi ez'okutegana n'okugoba empewo obuwewo.
7
Era nazuula n'ekirala wansi w'enjuba omutali kantu:
8
Waaliwo omusajja ng'ali bwannamunigina, talina mwana yadde muganda we. Yali tata kutegana, naye amaaso ge nga tegakkuta bya bugagga bye. Awo nno ntawaanira ani? Lwaki neesubya ebirungi? Ne mu kino nakyo temuli kantu, kutegana okukwasa ennaku.
9
Ababiri basinga omu kubanga bafuna empeera nnungi mu kutegana kwabwe.
10
Omu bw'aba agudde, omulala amusitulawo. Ali obw'omu alabye. Bw'agwa, tewaba amusitulawo.
11
Era, ababiri bwe beebaka awamu, omu abugumya munne. Ali omu abuguma atya?
12
Omuntu yandikina kw'ali obw'omu, naye abali ababiri bandimulwanyisa. Omuguwa ogw'emiko esatu tegumala gakutulibwa.
13
Omulenzi omwavu, omugezi asinga kabaka omukadde ate nga musiru, atakyawuliriza kulabulibwa,
14
omulenzi ne bw'aba yava mu kkomera okujja ku nnamulondo, obanga yazaalibwa musabirizi mu bwakabaka bwe obwo.
15
Nalaba abalamu bonna abatambula wansi w'enjuba, nga bagoberera omuvubuka oli eyadda mu kifo kya kabaka.
16
Omuwendo gw'abantu bonna gwali tegukoma, ogw'abo bonna abaabakulemberamu. Naye abaddawo oluvannyuma tebaamusanyukira. Na kino temuli kantu, kugoba mpewo buwewo.
17
Kuuma ekigere kyo bw'oyingira mu nnyumba ya Katonda. Sembera mu buwulize okusinga okuweereza ebitambiro by'abasiru, abo abatamanyi nti bakola kibi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12