bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ecclesiastes 6
Ecclesiastes 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 7 →
1
Waliyo n'ekibi ekirala kye nalaba wansi w'enjuba, ate nakyo nga kizitoowerera abantu:
2
Omuntu Katonda gw'awa obugagga, ebintu n'ekitiibwa, ng'omutima gwe tegukyajula mu bye gwegomba, ate Katonda n'atamuwa kubyeliira, bo abalala ne babirya, kino temuli kantu; kirwadde kibi!
3
Oli ne bwe yandizadde abaana ekikumi, n'awangaala emyaka mingi, ne bwe yandiwangadde kutuusa wa, naye nga teyeeyagalidde kimala mu bugagga bwe, n'ataziikibwa na bulungi, ku oyo nze ŋŋamba nti olubuto oluvuddemu lumusinga.
4
Anti omwana yajjira bwereere, n'alaga mu nzikiza, n'erinnya lye lizingiddwazingiddwa mu nzikiza.
5
Newandibadde teyalaba ku njuba yadde okugimanya, naye awummudde okusinga oli,
6
oyo ne bwe yaliwangadde emyaka lukumi n'alukubisaamu n'emirundi ebiri naye n'ateeyagalira mu bugagga bwe. Bonna tebagenda mu kifo kimu?
7
Byonna omuntu by'ateganira bidda eri kamwa ke, okwegomba kwe tekulikkuta.
8
Omugezi kiki ky'asinga omusiru? N'omwavu afunamu ki amanyi okweyisa obulungi mu maaso g'abalamu?
9
Amaaso kye galaba kirungi okusinga okwegomba bye kulondoola; na kino temuli kantu, kugoba mpewo buwewo.
10
Buli kyonna ekiriwo kyatuumibwa dda erinnya, na buli muntu ky'ali kimanyiddwa, nti tayinza kuwerennemba n'oli amusinga amaanyi.
11
Ebigambo gye bikomya obungi n'obutabaamu kantu. Awo nno omuntu aggyamu ki?
12
Ani amanyi ekirungi eri omuntu mu bulamu, mu nnaku entono omutali na mugaso, z'amalako ng'ekisiikirize? Yadde ani asobola okumumanyisa ekiribaawo wansi w'enjuba nga ye takyaliwo?
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12