bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ecclesiastes 7
Ecclesiastes 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 8 →
1
Erinnya eddungi lisinga omuzigo ogw'omuwendo, n'olunaku olw'okufa lusinga olw'okuzaalibwa.
2
Kirungi okugenda gye bakungubaga okusinga okugenda gye bali mu mbaga, kubanga eno nkomerero ya bonna; omulamu ekyo akirowoolereze mu mutima.
3
Ennaku zisinga enseko, kubanga omutima gusanyusibwa ennaku ku maaso.
4
Omutima gw'abagezi guba mu nnyumba ya kukungubaga, naye omutima gw'abasiru, mu nnyumba ya ssanyu.
5
Ekisinga obulungi kuwuliriza okukomako kw'omugezi, okusinga okuwulira ennyimba z'abasiru.
6
Ng'okutuliikirira kw'amaggwa agaaka wansi w'entamu, n'enseko z'omusiru bwe ziba; na kino nakyo temuli kantu.
7
Okutulugunya omugezi kumufuula musiru, n'enguzi eyonoona omutima.
8
Enkomerero y'omulimu nnungi okukira amasooka gaagwo, obugumiikiriza bulungi okukira okwewanika.
9
Togugumukanga mangu mu mwoyo, kubanga omusiru obusungu bumusula ku kifuba.
10
Togambanga nti: “Lwaki emirembe egy'edda gyali mirungi okusinga egya leero?” kubanga ekyo okukibuuza tekiva mu magezi.
11
Amagezi n'obusika birungi; bigasa abalaba enjuba.
12
Ng'amagezi bwe gataasa, ne ssente bw'etaasa, naye amagoba agali mu kumanya ge gano: nti amagezi, agalina, gamuwa obulamu.
13
Wekkaanye emirimu gya Katonda; ani asobola okugolola ye kye yakola nga kyewese?
14
Mu biseera ebirungi beera musanyufu, ate mu lunaku olubi wekkaanye: Katonda y'akola luno na luli, omuntu aleme kuzuula na kimu ku birimuddirira.
15
Mu bulamu bwange buno omutali mugaso, byonna nabiraba: omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe, n'omubi awangaalira mu bugwenyufu bwe.
16
Leka kuyitiriza mu kubeera mutuukirivu, oba omugezi okusukkiriza. Lwaki wetta wekka?
17
Toyitiriza kubeera mubi, era toba musiru; lwaki ofa ng'akaseera ko tekannatuuka?
18
Kirungi okunyweza ekimu, ate n'ekirala n'otokiggyako mukono, kubanga atya Katonda mu byombi yeekuuma.
19
Amagezi gagumya omugezi okusinga ekkumi abafuga ekibuga.
20
Mpaawo muntu mutuukirivu mu nsi akola kirungi n'atakola kibi.
21
Tossa mutima gwo ku buli kyogerwa, sikulwa ng'owulira omuweereza wo ng'akuvumirira.
22
Kubanga naawe muli omanyi nti mirundi mingi naawe ovumirira abalala.
23
Bino byonna nabigeza mu magezi, ne ŋŋamba nti: “Nzija kufuuka mugezi,” naye byandi wala.
24
Ekyaliwo kiri wala, wansi ekkuzimu; ani anaakizuula?
25
Omutima gwange naguzza ku kuyiga, okwekenneenya n'okunoonya amagezi n'obutetenkanya, n'okutegeera obusiru obuli mu kukola obubi, n'obulalulalu obuli mu butamanya.
26
Nasanga ng'omukazi oyo akaawa okusinga olumbe, omutima gwe nga mutego na kitimba, n'emikono gye nga masamba. Asanyusa Katonda amusumattuka, naye omwonoonyi amukwasa.
27
Koweleti agamba nti: “Kino kye nazuula: nga ngatta kimu ku kimu ndyoke ntuuke ku ntetenkanya y'ebintu,
28
bye nkyanoonya, naye bye sinnasanga. Omusajja omulungi mu lukumi namusanga, naye omukazi omulungi okusinga abalala sinnamusanga.
29
Kino kyokka kye nasanga: Katonda omuntu yamukola mutuufu, naye abantu beetadde mu butetenkanya bungi.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12