bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ecclesiastes 10
Ecclesiastes 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
1
Ensowera enfu ereetera omuzigo okucuuma, n'obutamanya obutono buti buzitowa okusinga amagezi n'ekitiibwa.
2
Omutima gw'omugezi gumuwunzikira ku ddyo, naye omutima gw'omusiru gumuwunzikira ku kkono.
3
Omusiru bw'atambula mu kkubo tabaamu ka buntu, yeeraga bonna bw'ali omusiru.
4
Obusungu bw'omufuzi bwe bukuyimukirangamu, tovanga mu kifo kyo; obuteefu bukkakkanya ensobi ennene.
5
Waliwo ekibi ekirala kye nalaba wansi w'enjuba, ensobi etera okugwibwamu abalina obuyinza.
6
Abasiru bassibwa mu bifo ebya waggulu, ate abagagga ne bassibwa mu bya wansi.
7
Nalaba abaddu nga beebagadde ku mbalaasi, bo abakungu nga batambulira ku ttaka ng'abaddu.
8
Asima obunnya, alibugwamu, n'oli ayiwa ekisenge, omusota gulimubojja.
9
Ayasa amayinja galimuteekako obuvune n'ayasa enku zandimutuusaako akabi.
10
Embazzi bw'ekoŋŋontera ng'obwogi tebukyasala, omulimu gweyongera, naye obukugu buleeta magoba.
11
Omusota bwe gubojja nga tegunagulikibwa, omugulisi taggyamu magoba.
12
Ebigambo by'akamwa k'omugezi bimureetera obuganzi, naye emimwa gy'omusiru gimwettira.
13
Mu kusooka, ebigambo by'akamwa ke biba butamanya; mu kumaliriza, emimwa gye gyogera bugwagwa obw'ekiralulalu;
14
ye omusiru akanya bigambo. Teri amanyi kirijja, ani asobola okutegeeza omuntu ekirimuddirira?
15
Okutegana kw'omusiru kumukooya, atamanyi na kkubo limutuusa ku kibuga.
16
Zikusanze ggwe ensi erina kabaka akyali omulenzi, erina n'abakungu abakeera okulya.
17
Weesiimye, ggwe ensi erina kabaka ow'olulyo olulangira, erina abakungu abalya mu budde obw'okulya, lwa kwezzaamu ndasi naye si lwa ttamiiro.
18
Olw'obunafu obusolya bukka; olw'obugayaavu bw'emikono ennyumba etonnya.
19
Embaga zikolebwa kuwa ku nseko, n'omwenge gucamula obulamu, naye ssente y'efuga byonna.
20
Tovumiriranga kabaka, yadde mu birowoozo byo, tovumiriranga mugagga, yadde eyo mu kisenge kyo; kubanga ebinyonyi eby'omu bbanga byanditwala ebigambo byo, ekirina ebiwaawatiro ky'andiroopa by'oyogedde.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12