bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ecclesiastes 2
Ecclesiastes 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 3 →
1
Nagamba mu mutima gwange nti: “Jjangu, nzija kukugeza n'amasanyu, nzuule ekirungi kye gawa.” Ne mu kino temuli kantu.
2
Ku nseko nagamba nti: “Bulalulalu,” ate ku ssanyu nti: “Kigasa ki?”
3
Nalowooza ku ky'okusanyusa obulamu bwange n'omwenge, ne ku ky'okuwambaatira obutamanya, gwo omutima gwange nga gukyankulembera n'amagezi. Nayagala ndabe kiki ekigasa abaana b'abantu okukola wansi w'enjuba mu nnaku entono ez'obulamu bwabwe.
4
Ne mbakana n'eby'okukola: neezimbira ennyumba, ne nsimba emizabbibu.
5
Neesimbira ennimiro n'obulimiro obw'ebimuli, ne nsimbamu emiti egy'ebibala ebya buli kika.
6
Neekolera ebidiba eby'amazzi nfukirire ennimiro y'emiti egyali gigenda gyanya.
7
Nalina abaddu n'abazaana, n'abaddu abamu banzaalirwa mu maka gange; nalina amagana g'ente n'ebisibo by'endiga n'embuzi ebinene okusinga bonna abankulembera mu Yeruzaalemu bye baalina.
8
Era neekuŋŋaanyiza ffeeza, zaabu n'obugagga bwa bakabaka n'abaamasaza; nafuna abayimbi abasajja n'abakazi, na buli kisanyusa omutima gw'omuntu, anti gwe mwandu gw'abakazi.
9
Ne ntutumuka, ne nsinga bonna abankulembera mu Yeruzaalemu; go amagezi gange gaasigala nange.
10
Na byonna amaaso gange bye geegombanga nga sibigagaana, n'omutima gwange saagumma ssanyu na limu. Omutima gwange gwasanyukira byonna bye nakola, era guno gwe gwali omugabo gwe naggya mu bye nakola.
11
Naye bwe nakyukira eri byonna emikono gyange bye gyali gikoze n'okutegana kwe nali nteganyeeemu okubaako kye nkola, byonna temwali kantu, kwali kugoba mpewo buwewo; mpaawo magoba wansi w'enjuba.
12
Awo ne nzira ku kwekkaanya amagezi, obulalulalu n'obutamanya. Anti omuntu alisikira kabaka alikola ki? Si kye baakola edda?
13
Nalaba nti amagezi gasinga obutamanya, kyenkana ng'ekitangaala bwe kisinga enzikiza.
14
Omugezi amaaso ge gali ku mutwe gwe, naye omusiru atambulira mu nzikiza. Nayiga nti byombi enkomerero ye emu ebituukirira.
15
Ne ŋŋamba mu mutima gwange nti: “Ekigwira omusiru nange kye kiringwira; ngasirwamu ki okubeera omugezi?” Ne njogera mu mutima gwange nti: “Na bino temuli kantu.”
16
Kubanga omugezi okufaanana n'omusiru talijjukirwa emirembe gyonna; manyanga gye bulijja bombi nga beerabirwa dda. Omusiru afa, n'omugezi afa kyenkana.
17
Obulamu kyennava mbukyawa, kubanga ebikolebwa wansi w'enjuba ndaba bibi. Byonna temuli kantu, kugoba mpewo buwewo.
18
Nakyawa okutegana kwange kwe nateganamu wansi w'enjuba kubanga nalaba nga ndibirekera oyo alinziririra.
19
Ani amanyi oba aliba mugezi oba musiru? Oyo y'alifuga emirimu gyange gyonna egyanteganya wansi w'enjuba kwe namalira amagezi gange. Na kino temuli kantu.
20
Awo omutima gwange ne guterebuka mu bye nali nteganyeemu wansi w'enjuba.
21
Kubanga omuntu ategana n'akola n'amagezi, n'okumanya n'obukugu, naye omugabo gwe n'agulekera omulala ataabikolerera; na kino nakyo temuli kantu, kya nnaku nnyo.
22
Omuntu mugaso ki gw'aggya mu byonna by'ateganamu wansi w'enjuba n'omutima gwe bye gwefubirira.
23
Obudde bwe bwonna nnaku nsa, n'emirimu gye kusobezebwa kwereere; n'ekiro kyonna omutima gwe teguwummula; na kino nakyo temuli kantu.
24
Teri kirungi omuntu kye yandikoze kyandisinze kulya, kunywa n'okusanyukira mu kutegana kwe. Ndaba na kino kiva mu mikono gya Katonda,
25
kubanga awatali Katonda ani yandiridde, ani yandisanyuse?
26
Omuntu omulungi mu maaso ga Katonda, amuwa amagezi, okumanya, n'essanyu, naye omwonoonyi amuwa mugugu gwa kukuŋŋaanya na kutuuma alyoke awe oli eyasanyusa Katonda. Na kino temuli kantu, kugoba mpewo buwewo.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12