bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ecclesiastes 9
Ecclesiastes 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 10 →
1
Byonna bino nabikubaganyaako mu mutima gwange, ne ntegeera nti abatuukirivu, abagezi n'emirimu gyabwe biri mu mikono gya Katonda. Naye omuntu tamanyidde ddala oba kwagala oba bukyayi; byonna mu maaso gaabwe temuli kantu.
2
Bonna enkomerero ye emu: omutuukirivu n'omubi, omulungi n'omubi, omulongoofu n'atali mulongoofu, atambira ebitambiro n'atatambira; nga bwe kiri ku mulungi, bwe kiri ne ku mubi; nga bwe kiri ku alayira, bwe kiri ne ku atalayira.
3
Kino kye kibi mu byonna ebiri wansi w'enjuba: okulaba nga bonna ekibalindiridde kye kimu; emitima gy'abaana b'abantu gijjudde bwonoonefu, ne mu mitima gyabwe mulimu obulalulalu ebbanga lyonna nga balamu, ate oluvannyuma ne beegatta ku baafa.
4
Oli akyali n'abalamu akyalina essuubi; anti embwa ennamu nnungi okukira empologoma enfu.
5
Kubanga abalamu bamanyi nti ba kufa, naye abafu tebalina kirala kye bamanyi; tebakyalinayo na mpeera ndala, kubanga n'eby'okubajjukira byaggwa.
6
Okwagala kwabwe, obukyayi n'obuggya bwabwe byonna byabulawo dda; tebikyalina na mugabo mu ebyo ebikolebwa wansi w'enjuba.
7
Genda weriire emmere yo mu ssanyu, wenywere n'omwenge gwo n'omutima omusanyufu, kubanga Katonda yasanyukira dda by'okola.
8
Obudde bwonna ebyambalo byo bibeere nga byeru, n'omuzigo guleme kuggwa ku mutwe gwo.
9
Weeyagale n'omukazi gw'oyagala, ennaku zo zonna ez'obulamu buno omutali kantu obwakuweebwa wansi w'enjuba, obudde bwonna omutava kaganyula. Anti ekyo gwe mugabo gwo mu bulamu bwo ne mu kutegana kw'oteganamu wansi w'enjuba.
10
Kyonna omukono gwo kye gugwikiriza okukola, kikole n'amaanyi go gonna, kubanga mu magombe gy'ogenda teriba kukola, kutetenkanya, yadde okuyiga oba amagezi.
11
Nalaba ekirala wansi w'enjuba: embiro teziwangulibwa asinga kuwenyuka, newandibadde olutalo, asinga buzira; n'emmere tejjira bagezi, wadde obugagga abategeevu, oba obuganzi abayivu, wabula buli omu asanga akadde n'akakisa.
12
Ate era omuntu tamanyi nkomerero ye; wabula ng'ebyennyanja ekiragala ekibi bwe kibikwata, nga n'ennyonyi bwe zikwatibwa ekitimba, n'abantu bwe bategwa batyo obudde obubi obubazinduukiriza.
13
Era nalaba ekintu eky'amagezi wansi w'enjuba kye nasanga nga kikulu:
14
Waaliwo ekibuga ekitono, nga mulimu abantu batono, kabaka ow'amaanyi n'akirumba, n'akitaayiza, n'akituumako embibiro ennene okukyetoolooza.
15
Kati nno mu kibuga ekyo mwalimu omusajja omunaku, naye nga mugezi, eyawonya ekibuga n'amagezi ge. Naye tewali akyajjukira musajja oyo omunaku.
16
Ne ŋŋamba nti: “Amagezi malungi okusinga amaanyi, newandibadde ng'amagezi g'omunaku gagayibwa n'ebigambo bye tebiwulirwa.”
17
Ebigambo by'abagezi ebikkakkamu biwulirwa okusinga okuleekaana kw'afuga mu basiru.
18
Amagezi malungi okusinga ebissi eby'omu ntalo, naye omwonoonyi omu afiiriza ebirungi nfaafa.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12