bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ecclesiastes 5
Ecclesiastes 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 6 →
1
Toyanguyirizanga kwogera; mu mutima gwo toyanguyirizanga kwogera kigambo mu maaso ga Katonda. Katonda ali mu ggulu, ate ggwe oli ku nsi, awo nno ebigambo byo bibeere bitono.
2
Kubanga ebirooto bijja lwa kweraliikirira kungi, n'okwogera okw'ekisiru kuva mu kwogera bingi.
3
Bw'obaako kye weeyamye eri Katonda tolwangawo kukituukiriza. Tosanyukiranga mu basiru; kye weeyamye kituukirize.
4
Obuteeyama kantu kisinga okweyama ate n'ototuukiriza.
5
Toganya kamwa ko kukuleetera kukola kibi, era teweemulugunya mu maaso ga mubaka nti: “Yali nsobi.” Lwaki oleetera Katonda okunyiigira ebigambo byo, n'oyonoona emirimu gy'emikono gyo?
6
Awaba ebirooto ebingi, wabaawo ebitaliimu kantu n'ebigambo ntoko. Ggwe tya Katonda.
7
Bw'olaba eyo mu bitundu ng'abanaku banyigirizibwa, ng'obwenkanya n'obwannannyini bityoboolebwa, ekyo tokyewuunyanga. Kubanga omukungu omukulu alondoolwa amusingako, ate ne waggulu wa bano bombi eriyo ababasinga.
8
Amagoba agava mu nsi bagagabana; kabaka y'atwala eby'omu nnimiro.
9
Ayagala ssente, talikkuta ssente, n'ayagala obugagga talikkuta magoba. Na kino nakyo temuli kantu.
10
Awali ebintu ebingi, n'ababirya baba bangi; olwo nnannyini byo bimugasa ki, mpozzi okubitunulako obutunuzi?
11
Otulo tw'omukozi tuwooma, ne bw'alya akatono ne bw'alya ekingi; naye omwero gw'omugagga tegumuganya kwebaka.
12
Waliwo ekirwadde ekibi kye nalaba wansi w'enjuba: obugagga obutuume obw'obulabe eri nnannyinibwo.
13
Bwazikirira olw'entaanya emu; ate yalina omwana omu, naye teyalina kantu mu mikono gye.
14
Bwereere nga bwe yafuluma mu lubuto lwa nnyina, era omuntu bw'aligenda. Talina ky'alitwala ku bye yateganira ky'aliyinza kugenda nakyo mu ngalo.
15
Kino kirwadde kibi okugenda nga bwe yajja; magoba ki gaafuna okuteganira empewo?
16
Amala ennaku zonna ez'obulamu bwe ng'aliira mu nzikiza, ng'ali mu kusoberwa, buyinike na busungu.
17
Nze ndaba nga kirungi era kye kituufu oli okulya, okunywa n'okusanyukira mu kutegana kwe kwe yateganamu wansi w'enjuba, mu nnaku entono ez'obulamu bwe Katonda ze yamuwa; anti ogwo gwe mugabo gwe.
18
Buli muntu Katonda gw'awa obugagga n'ebintu, n'amusobozesa okubyeyagaliramu, n'amukkiriza n'okusanyukira mu biva mu kutegana kwe, ekyo nno kirabo kya Katonda.
19
Emirundi mingi talirowooza ku bumpi bwa nnaku ze, kubanga Katonda aliba amutwalirizza n'essanyu ly'omutima gwe.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12