bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ecclesiastes 11
Ecclesiastes 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 12 →
1
Omugaati gwo gukasuke ku mazzi, kubanga nga wayise ennaku nnyingi oligusanga nate.
2
Ekitundu kigabire omusanvu oba omunaana, kubanga tomanyi kabi kaligwa mu nsi.
3
Ebire bwe bijjula amazzi, biyiwa enkuba ku nsi; omuti bwe gugwira emaserengeta oba emambuka we gugudde, we gusigala.
4
Eyekkaanya empewo, tasiga, n'eyeetegereza ebire, talikungula.
5
Nga bw'otomanyi mpewo bw'efuuwa, n'engeri omuntu gy'akula mu lubuto, bw'otyo era bw'otomanyi mirimu gya Katonda, eyakola buli kintu.
6
Ku nkya siga ensigo zo, n'akawungeezi toleka mikono gyo kulagaya, kubanga tomanyi kiriraka, kino oba kiri; obanga byombi birivaamu bulungi.
7
Ekitangaala kiwoomerera, n'okulaba enjuba kisanyusa amaaso.
8
Gyonna emyaka omuntu gy'aliba awangadde, kirungi agyeyagaliremu gyonna. Naye kisaanye ajjukire obudde obwa kazigizigi, kubanga nabwo buliba bunene; buli kijja kyonna temuli kantu.
9
Kale mulenzi, sanyuka mu buto bwo, n'omutima gwo gusanyuse mu nnaku z'obuvubuka bwo. Tambula ng'omutima gwo bwe gukugamba n'amaaso go nga bwe gakulambika; kyokka manya nti Katonda alikulamula olwa bino byonna.
10
Omutima gwo guggyemu okweraliikirira n'omubiri gwo gugobeeko ebigulumya, kubanga obuvubuka n'obusuumufu temuli kantu.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12