bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 1
Mark 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
1
Okusooka kw'Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.
2
Nga bwe kyawandiikibwa nnabbi Isaaya nti, “Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go, Alirongoosa oluguudo lwo;
3
Eddoboozi lye ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge;”
4
Yokaana Omubatiza yajja mu ddungu, n'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggyibwako ebibi.
5
N'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'e Yerusaalemi bonna ne bavaayo ne bajja gy'ali n'ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe.
6
Ne Yokaana yayambalanga byoya bya ŋŋamira, ne yeesibanga olukoba lw'eddiba mu kiwato kye, ng'alya nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.
7
N'abuulira ng'agamba nti, “Oluvannyuma lwange waliwo ajja, ye ansinga amaanyi, so sisaanira kukutama kutuggulula bukoba bwa ngatto ze.
8
Nze mbabatiza n'amazzi, naye oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu.”
9
Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n'ava e Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya n'ajja n'abatizibwa Yokaana mu mugga Yoludaani.
10
Bwe yali yakava mu mazzi, amangwago Yesu n'alaba eggulu nga libikkuse n'Omwoyo ng'amukkako ng'ejjiba;
11
n'eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.”
12
Amangwago Omwoyo n'asindika Yesu mu ddungu.
13
N'abeera mu ddungu ennaku ana (40) ng'akemebwa Setaani; n'aba wamu n'ensolo; ne bamalayika nga bamuweereza.
14
Awo oluvannyuma Yokaana ng'amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n'ajja e Ggaliraaya, ng'abuulira Enjiri ya Katonda,
15
ng'agamba nti, “Ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde, mwenenye, mukkirize Enjiri.”
16
Bwe yali ng'ayita ku lubalama lw'ennyanja ey'e Ggaliraaya, Yesu n'alaba Simooni ne Andereya muganda we nga basuula obutimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi.
17
Yesu n'abagamba nti, “Mujje muyite nange, ndibafuula abavubi b'abantu.”
18
Amangwago ne baleka awo obutimba ne bamugoberera.
19
Bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo omwana wa Zebbedaayo ne Yokaana muganda we, abo bombi baali mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe.
20
Amangwago n'abayita: ne baleka awo kitaabwe Zebbedaayo mu lyato ng'ali n'abo abakolera empeera, ne bamugoberera.
21
Ne bayingira mu Kaperunawumu; amangwago ku lunaku lwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayigiriza.
22
Ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe: kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng'abawandiisi.
23
Amangwago mu kkuŋŋaaniro lyabwe mwalimu omuntu aliko omwoyo omubi;
24
n'akaaba nga agamba nti, “ Otwagaza ki Yesu ow'e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nkumanyi ggwe, ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.”
25
Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti, “Bunira, muveeko.”
26
Awo omwoyo omubi ne gumusikambula ne gukaaba n'eddoboozi ddene ne gumuvaako.
27
Ne beewuunya bonna, ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Kiki kino? Kuyigiriza kuggya, alagira n'obuyinza n'emyoyo emibi ne gimuwulira!”
28
Amangwago ettutumu lye ne libuna ensi yonna eriraanye Ggaliraaya.
29
Amangwago bwe baava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda wamu ne Yakobo ne Yokaana mu nnyumba ya Simooni ne Andereya.
30
Awo nnyazaala wa Simooni yali ng'agalamidde ng'alwadde omusujja. Amangwago ne bamubuulira bw'ali.
31
N'ajja n'amukwata ku mukono n'amugolokosa, omusujja ne gumuwonako, n'abaweereza.
32
Awo olweggulo, enjuba ng'egudde, ne bamuleetera abalwadde bonna, n'abo abaaliko dayimooni.
33
Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku wankaaki.
34
N'awonya bangi abaali balwadde endwadde nnyingi, n'agoba baddayimooni bangi, n'atabaganya kwogera kubanga baamumanya.
35
Awo mu makya ennyo, ng'obudde tebunnalaba, Yesu n'agolokoka n'afuluma, n'agenda mu kifo eteri bantu n'asabira eyo.
36
Simooni n'abo abaali naye ne bamugoberera,
37
ne bamulaba ne bamugamba nti, “Bonna bakunoonya.”
38
N'abagamba nti, “Tugende awalala mu bibuga ebituliraanye, mbuulire n'eyo; kubanga ekyo kye nnajjirira.”
39
N'ayingira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Ggaliraaya yonna, ng'abuulira ng'agoba baddayimooni.
40
Omugenge n'ajja gy'ali, ng'amwegayirira ng'amufukaamiridde, ng'amugamba nti, “Bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.”
41
N'amusaasira n'agolola omukono gwe n'amukwatako n'amugamba nti, “Njagala, longooka.”
42
amangwago ebigenge bye ne bimuwonako n'alongooka.
43
N'amukuutira nnyo, amangwago n'amusiibula
44
ng'amugamba nti, “Laba tobuulirako muntu; naye genda weeyanjule eri kabona, era oweeyo olw'okulongooka kwo ekyo Musa kye yalagira okukakasa abantu nti olongoose.”
45
Naye n'afuluma, n'agenda nga akyogerako, ng'asaasaanya amawulire ago, ne Yesu n'atayinza kuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye n'abeera mu bifo ebyekusifu; n'abantu ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16