bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 2
Mark 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
1
Awo ennaku bwe zaayitawo n'ayingira nate mu Kaperunawumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nju.
2
Ne bakuŋŋaana bangi, ne wataba na kifo we bagya newakubadde mu mulyango: n'ababuulira ekigambo.
3
Ne bajja abaaleeta omulwadde akoozimbye nga bamwetisse abasajja bana.
4
Naye bwe baalemwa okumuyingiza olw'ekibiina, ne babikkula waggulu ku nnyumba we yali; ne bawummulawo ekituli ne bassa ekitanda akoozimbye kwe yali agalamidde.
5
Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe n'agamba akoozimbye nti, “Mwana wange, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
6
Naye waaliwo abawandiisi abamu nga batudde ne balowooza mu mitima gyabwe
7
nti, “Ono kiki ekimwogeza bw'atyo? Avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?”
8
Amangwago Yesu bwe yategeera mu mwoyo gwe nga be buuzaganya bwe batyo munda yaabwe n'abagamba nti, “Lwaki mwebuuzaganya bwe mutyo mu mitima gyammwe?
9
Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti, Ebibi byo bikusonyiyiddwa oba okugamba nti, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule?
10
Naye mumanye nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi,” n'agamba eyali akoozimbye nti,
11
“Nkugamba, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.”
12
N'agolokoka, amangwago ne yeetikka ekitanda kye, n'afuluma nga bonna balaba. Awo bonna ne beewuunya ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti, “Tetulabangako kintu bwe kiti.”
13
Awo Yesu n'agenda nate ku lubalama lw'ennyanja; ekibiina ky'abantu ne kijja w'ali, n'abayigiriza.
14
Awo bwe yali ng'atambula ku lubalama, n'alaba Leevi omwana wa Alufaayo ng'atudde we yasoloolezanga omusolo, n'amugamba nti, “ Ngoberera.” N'agolokoka n'amugoberera.
15
Awo bwe yali ng'atudde mu nnyumba ya Leevi ng'alya, abawooza bangi n'abalina ebibi baali batudde ne Yesu n'abayigirizwa be: kubanga bangi abaali bamugoberedde.
16
Abawandiisi ab'omu Bafalisaayo bwe baamulaba Yesu ng'aliira wamu n'abalina ebibi n'abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “ Lwaki aliira wamu n'abawooza n'abalina ebibi?”
17
Awo Yesu bwe yakiwulira n'abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”
18
Awo abayigirizwa ba Yokaana n'ab'Abafalisaayo baali nga basiiba; ne bajja ne bamubuuza nti, “ Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n'abayigirizwa b'Abafalisaayo basiiba, naye nga abayigirizwa bo tebasiiba?”
19
Yesu n'abagamba nti, “Abagenyi ba wasizza omugole bayinza batya akusiiba awasizza omugole ng'ali nabo? Bwe baba nga bakyali n'awasizza omugole, tebayinza kusiiba.
20
Naye ennaku zirituuka, awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba ku lunaku olwo.
21
Tewali muntu atunga ekiwero eky'olugoye oluggya ku kyambalo ekikadde; bw'akola bwatyo ekiwero ekiggya kikutula ekikadde, ekituli ne kyeyongera.
22
Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge guyiika n'ensawo ez'amaliba zoonooneka; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya.”
23
Awo lumu ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ayita mu nnimiro, abayigirizwa be ne batandika okugenda nga banoga ebirimba.
24
Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Laba, Lwaki bakola ekyo ekitakkirizibwa ku lunaku lwa ssabbiiti?”
25
Yesu n'abagamba nti, “Temusomangako Dawudi kye yakola, bwe yali nga yeetaaga, n'alumwa enjala ye n'abo be yali nabo?
26
Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, Abiyasaali bwe yali nga ye kabona asinga obukulu, n'alya emigaati egy'okulaga, egy'omuzizo okuliibwako wabula bakabona, n'agiwa ne be yali nabo?”
27
N'abagamba nti, “Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa ssabbiiti.
28
Bwe kityo Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16