bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 6
Mark 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
1
Yesu n'ava mu kitundu ekyo, n'ajja mu nsi y'ewaabwe, ng'ali n'abayigirizwa be.
2
Awo ku ssabbiiti n'agenda mu kkuŋŋaaniro n'atandika okuyigiriza. Abantu bangi bwe baamuwulira ne bawuniikirira, ne bagamba nti, “Omusajja ono bino byonna yabiyigira wa? Magezi ki ono ge yaweebwa n'eby'amagero eby'enkanidde wano by'akola?
3
Si y'ono omubazzi, omwana wa Malyamu, muganda wa Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? era ne bannyina tetubeera nabo kuno okwaffe?” Ne bamwesittalako.
4
Yesu n'abagamba nti, “Nnabbi tabulwa kitiibwa wabula mu nsi ye waabwe, ne mu kika kye, ne mu nnyumba ye.”
5
Era teyakolerayo ky'amagero kyonna, okuggyako okussa emikono gye ku balwadde batono, n'abawonya.
6
Ne yeewuunya olw'obutakkiriza bwabwe. Awo n'agenda nga ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.
7
Awo Yesu n'ayita gy'ali ekkumi n'ababiri, n'atandika okubatuma kinnababirye; n'abawa obuyinza ku mwoyo emibi.
8
N'abalagira obutatwala kintu kyonna gye bagenda okuggyako omuggo gwokka, si mmere, newakubadde ensawo, newakubadde ensimbi mu lukoba.
9
Bambale engatto naye tebatwala kkanzu bbiri.
10
N'abagamba nti, “Buli nju yonna mwe muyingiranga mubeeranga omwo okutuusa lwe mulivaayo.
11
Na buli kifo kyonna ekitalibakkiriza, ekitalibawulira, bwe muvangayo, mukunkumulanga enfuufu eri mu bigere byammwe okuba omujulirwa gyebali.”
12
Ne bagenda ne babuulira okwenenya.
13
Ne bagoba baddayimooni bangi, ne basiiga amafuta ku balwadde bangi ne babawonya.
14
Awo Kerode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lya Yesu lyali lyatiikiridde; n'agamba nti, “Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, amaanyi gano kyegava gakolera mu ye.”
15
Naye abalala ne bagamba nti, “Ye Eriya.” Abalala ne bagamba nti, “Nnabbi ng'omu ku bannabbi.”
16
Naye Kerode, bwe yawulira n'agamba nti, “ Yokaana gwe nnatemako omutwe nze, ye azuukidde.”
17
Kubanga Kerode yennyini yatuma, n'akwata Yokaana, n'amusiba mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa muganda we Firipo gwe yawasa.
18
Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “ Si kituufu ggwe okutwala mukazi wa muganda wo.”
19
Kerodiya n'ayagala okutta Yokaana yeesasuze, naye nga tayinza,
20
kubanga Kerode yatya Yokaana, ng'amumanyi nga omuntu omutuukirivu era omutukuvu, n'amwekuuma. Kerode yayagalanga nnyo okuwulira Yokaana by'ayogera; naye ate byamulekanga nga tamanyi kya kukola.
21
Naye olunaku lwali lumu Kerodiya n'afuna oluwenda okutuukiriza kye yali yayagala edda okukola. Olwali olwo Kerode n'afumbira abakungu be embaga ku lunaku olw'amazaalibwa ge, n'ayita abakungu be n'abakulu b'abaserikale n'abaami bonna abakulu mu Ggaliraaya.
22
Awo muwala wa Kerodiya yennyini bwe yajja n'azina, Kerode n'abo abaali batudde naye nga balya ne bamusiima; awo kabaka n'agamba omuwala nti, “Nsaba ky'oyagala kyonna, nnaakikuwa.”
23
N'amulayirira nti, “Kyonna kyonna ky'ononsaba, nnaakikuwa, newakubadde ekitundu eky'obwakabaka bwange.”
24
Awo omuwala n'afuluma, n'agamba nnyina nti, “ Nsabe ki?” N'agamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.”
25
Awo omuwala amangwago n'addayo eri kabaka, n'amusaba ng'agamba nti, “Njagala ompe kaakano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lutiba.”
26
Awo kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'abo abaali batudde naye nga balya nga baawulira, n'atayagala kumenyawo kigambo kye yali agambye omuwala.
27
Kale amangwago kabaka n'atuma sserikale omumbowa, n'alagira okuleeta omutwe gwa Yokaana. N'agenda n'amutemerako omutwe mu kkomera,
28
n'aleetera omutwe gwe mu lutiba, n'aguwa omuwala, n'omuwala n'aguwa nnyina.
29
Awo abayigirizwa be bwe baawulira, ne bajja ne batwala omulambo gwe, ne baguziika mu ntaana.
30
Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamubuulira ebigambo byonna, bye baakola, ne bye baayigiriza.
31
N'abagamba nti, “ Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono.” Kubanga waaliwo abantu bangi abali bajja gyebali nga n'abalala bagenda, ne babulwa n'akaseera ak'okuliiramu ku mmere.
32
Nebalinnya mu lyato bokka ne bagenda mu kifo eteri bantu.
33
Naye abantu bangi ne ba balaba nga bagenda, ne babategeera, n'abo abaava mu bibuga byonna ne badduka okwetooloola ku lukalu, ne babasookayo.
34
Awo Yesu bwe yava mu lyato n'alaba ebibiina bingi, n'abasaasira, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba, n'atandika okubayigiriza ebintu bingi.
35
Awo obudde bwe bwali buyise, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Ekifo kino kya ddungu, ne kaakano obudde buyise:
36
basiibule, bagende mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano bagende beegulire emmere.”
37
Naye n'addamu, n'abagamba nti, “Mmwe mubawe emmere.” Ne bamugamba nti, “ Tugende tugule emigaati egy'eddinaali ebibiri (200) tugibawe balye?”
38
N'abagamba nti, “ Mulina emigaati emeka?” Mugende mulabe. Bwe baategeera ne bagamba nti, “Etaano, n'ebyennyanja bibiri.”
39
N'abalagira batuule bonna bibiina bibiina ku muddo.
40
Ne batuula nnyiriri nnyiriri, ekikumi (100), n'ataano (50).
41
N'akwata emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula waggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati, n'awa abayigirizwa be bagisse mu maaso ga bali; n'ebyennyanja bibiri n'abigabira bonna.
42
Ne balya bonna ne bakkuta.
43
Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw'emigaati n'obw'ebyennyanja ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri (12).
44
Abo abaalya emigaati baali abasajja enkumi ttaano (5,000).
45
Amangwago Yesu n'agamba abayigirizwa be basaabale mu lyato, bawunguke bagende emitala w'ennyanja e Besusayida, ye amale okusiibula ebibiina.
46
Awo bwe yamala okubasiibula, n'agenda ku lusozi okusaba.
47
Awo bwe bwali buwungedde, eryato lyali mu nnyanja mu buziba, ye yali yekka ku lukalu.
48
Awo bwe yalaba nga bategana okuvuga, kubanga omuyaga gwali gubafulumye mu maaso, mu kisisimuka ekyokuna eky'ekiro n'ajja gye baali ng'atambulira ku nnyanja; yali ng'agenda kubayisa:
49
naye bo, bwe baamulaba ng'atambulira ku nnyanja, ne balowooza nti kifaananyi, ne bakaaba;
50
kubanga bonna baamulaba, ne beeraliikirira. Naye amangwago n'ayogera nabo, n'abagamba nti, “ Mugume omwoyo, nze nzuuno, temutya.”
51
N'alinnya mu lyato mwe baali, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo.
52
Tebategeera eby'emigaati kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu.
53
Awo bwe baawunguka, ne batuuka mu nsi ey'e Genesaleeti, ne bagoba ettale.
54
Awo bwe baava mu lyato, amangwago abantu ne bamutegeera,
55
ne badduka ne beetooloola mu nsi eyo yonna, ne batandika okusitulira ku bitanda abalwadde okubaleeta we baawulira nga wali.
56
Ne buli gye yagendanga, mu mbuga, oba mu bibuga, oba mu byalo, bassanga abalwadde mu butale, ne bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'olugoye lwe: n'abo abaamukomangako ne bawona.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16