bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 5
Mark 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
1
Ne batuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasene.
2
Bwe yava mu lyato, amangwago omuntu eyaliko omwoyo omubi naava mu malaalo najja n'amusisinkana.
3
Omusajja ono yasulanga mu malaalo, nga tewakyali muntu ayinza kumusiba, newakubadde mu lujegere,
4
kubanga emirundi mingi baagezangako okumussa mu masamba, n'okumusiba mu njegere, enjegere n'azikutula, n'amasamba n'agamenyaamenya. Ne wataba muntu wa maanyi asobola okumunyweza.
5
Naye bulijjo, ekiro n'emisana, yakaabiranga mu malaalo ne ku nsozi, era nga bwe yeesalaasala n'amayinja.
6
Awo bwe yalengera Yesu ng'akyali wala ko n'adduka n'atuuka awali Yesu n'amusinza; n'akaaba n'eddoboozi ddene
7
ng'agamba nti, “Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda, Ali waggulu ennyo? Nkulayiza Katonda, tombonereza.”
8
Kubanga Yesu yali amaze okugamba nti, “Va ku muntu ono, ggwe omwoyo omubi.”
9
Awo Yesu n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'addamu nti, “Erinnya lyange nze Liigyoni; kubanga tuli bangi.”
10
N'amwegayirira nnyo aleme okubagoba mu nsi eyo.
11
Awo ku lusozi waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nnyo nga zirya.
12
N'amwegayirira, ng'amugamba nti, “tusindike mu mbizzi tuziyingiremu.”
13
Yesu n'akkiriza. Awo emyoyo emibi ne giva mu musajja ne giyingira mu mbizzi. Awo eggana ly'embizzi lyonna ne lifubutuka ne liserengetera ku bbanga ne lyeyiwa mu nnyanja. Embizzi zonna ezaali nga enkumi bbiri (2,000), ne zifiira mu nnyanja.
14
Awo abaali bazirunda ne badduka, ne babuulira ab'omu kibuga, n'ab'omu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddeyo bwe biri.
15
Ne batuuka awali Yesu, ne balaba eyaliko baddayimooni abangi ng'atudde, ng'ayambadde era ng'ategeera bulungi, ne batya nnyo.
16
Abo abaalaba ebyaliwo ne babannyonnyola ebyali bituuse ku musajja oyo eyaliko dayimooni, era ne ku mbizzi.
17
Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu ave mu kitundu kyabwe.
18
Awo bwe yali ng'alinnya mu lyato okugenda, omusajja eyaliko baddayimooni n'amwegayirira agende naye.
19
Naye Yesu n'agaana, n'amugamba nti, “Genda eka mu babo, obabuulire bwe biri ebikulu Katonda by'akukoledde, ne bw'akusaasidde.”
20
Awo omusajja n'agenda, n'atandika okutegeeza abantu mu Dekapoli bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera. Abantu bonna ne beewuunya.
21
Awo Yesu bwe yawunguka nate mu lyato n'atuuka emitala, ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali ku lubalama lw'ennyanja.
22
Awo omu ku bakulu b'ekkuŋŋaaniro, erinnya lye Yayiro, bwe yalaba Yesu n'ajja n'avuunama ku bigere bye,
23
n'amwegayirira nnyo ng'agamba nti, “ Muwala wange omuto abulako katono okufa, nkwegayirira jjangu omusseeko emikono gyo, adde mu mbeera ye, alamuke.”
24
Awo Yesu n'agenda naye; ekibiina ekinene ne kimugoberera nga kigenda kimunyigiriza.
25
Awo mu kibiina ekyo mwalimu omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri (12).
26
Yali yeewubye ennyo mu basawo bangi, n'awangayo bye yali nabyo byonna, so n'atabaako kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongezi okulwala.
27
Bwe yawulira ebigambo bya Yesu, bw'atyo n'ajja nga yeenyigiriza mu kibiina n'atuuka emabega wa Yesu n'akoma ku kyambalo kye.
28
Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Bwe nkomako obukomi ku byambalo bye, nnaawona.”
29
Amangwago ekikulukuto ky'omusaayi n'ekikalira, n'awulira mu mubiri gwe ng'awonyezebbwa obulwadde bwe.
30
Amangwago Yesu bwe yategeera munda mu ye amaanyi agamuvuddemu, n'akyuka mu kibiina n'abuuza nti, “Ani akomye ku byambalo byange?”
31
Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Olaba ekibiina bwe bakunyigiriza, oyinza otya okubuuza nti, ‘Ani ankomyeko?’ ”
32
Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso okulaba oyo amukutteko.
33
Naye omukazi bwe yamanya ekimutuseeko, n'ajja eri Yesu ng'atidde nnyo era ng'akankana, n'agwa mu maaso ge, n'amubuulira amazima gonna.
34
Yesu n'amugamba nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe, owonere ddala obulwadde bwo.”
35
Awo bwe yali akyayogera, abaava mu maka ga Yayiro ne bajja, ne bagamba Yayiro nti, “Omuwala wo afudde. Oteganyiza ki nate Omuyigiriza?”
36
Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku bigambo ebyogeddwa wabula n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti, “Totya, kkiriza bukkiriza.”
37
Awo Yesu n'agaana abalala bonna okugenda naye okuggyako Peetero ne Yakobo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo.
38
Ne batuuka ku nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'alaba okwaziirana, n'abakaaba, n'abakuba ebiwoobe ebingi.
39
Awo bwe yayingira n'abagamba nti, “Kiki ekibaaziiranya n'ekibakaabya? Omuwala tafudde, naye yeebase bwe basi!”
40
Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo. Naye n'abagamba bonna bafulume mu nju. N'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina n'abayigirizwa abaali naye, n'ayingira nabo mu kisenge omuwala mwe yali.
41
Awo n'akwata omukono gw'omuwala, n'amugamba nti, “Talisa kkumi;” ekitegeeza nti, “Omuwala, nkugamba nti Golokoka.”
42
Amangwago omuwala n'agolokoka, n'atambula. Omuwala oyo yali aweza emyaka kkumi n'ebiri (12). Amangwago abaaliwo ne bawuniikirira nnyo.
43
Yesu n'abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n'alagira okuwa omuwala eky'okulya.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16