bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 4
Mark 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
1
Ate n'atandika okuyigiriza ku lubalama lw'ennyanja. Ekibiina kinene nnyo ne kikuŋŋaanira w'ali, kyeyava alinnya mu lyato, n'atuula mu lyo ku nnyanja, kyo ekibiina ne kibeera ku lubalama lwe nnyanja.
2
N'abayigiriza bingi mu ngero, n'abagamba mu kuyigiriza kwe nti,
3
“Muwulire; omusizi yafuluma okusiga:
4
awo olwatuuka bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya.
5
N'endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi; amangwago ne zimera, kubanga ettaka teryali ggwanvu:
6
enjuba bwe yayaka, ne ziwotookerera; era kubanga tezaalina mmizi, ne zikala.
7
Endala ne zigwa mu maggwa, amaggwa ne galoka, ne gazizisa ne zitabala bibala.
8
Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala ebibala ne bikula ne byeyongera; ne zizaala okutuusa asatu, era okutuusa enkaaga, era okutuusa ekikumi.”
9
N'agamba nti, “Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
10
Awo bwe yali yekka, abo abaali bamwetoolodde n'ekkumi n'ababiri ne bamubuuza ku ngero ezo.
11
N'abagamba nti, “Mmwe muweereddwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda, naye bali ab'ebweru byonna bibabeerera mu ngero:
12
Babe nga balaba naye nga tebeteegereza, babe nga bawulira naye nga tebategeera; sikulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”
13
N'abagamba nti, “Temutegeera lugero luno? Kale mulitegeera mutya engero zonna?
14
Omusizi asiga kigambo.
15
Bano be b'oku mabbali g'ekkubo, ekigambo we kisigibwa; awo bwe bawulira, amangwago Setaani n'ajja n'aggyamu ekigambo ekyasigibwa mu bo.
16
Ne bano bwe batyo be bali abasigibwa awali olwazi, abo, bwe bawulira ekigambo, amangwago bakikkiriza n'essanyu;
17
ne bataba na mmizi mu bo, naye bamala ekiseera kitono; awo bwe wabaawo okulaba ennaku oba kuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangwago nga bagwa.
18
N'abalala be bali abasigibwa mu amaggwa; abo, bwe bawulira ekigambo,
19
awo emitawaana gy'ensi n'obulimba bw'obugagga, n'okwegomba kw'ebirala byonna bwe biyingira bizisa ekigambo, ne kitabala.
20
N'abo be bali abasigibwa awali ettaka eddungi; abawulira ekigambo, abakikkiriza, ababala ebibala asatu (30), n'enkaaga (60), n'ekikumi (100).”
21
N'abagamba nti, “Ettaala ereetebwa okuteekebwa munda mu kibbo, nantiki munda w'ekitanda, n'eteteekebwa waggulu ku kikondo?
22
Kubanga tewali ekikwekebwa, ekitalimanyibwa, oba ekikisibwa, ekitalirabika mu lwatu.
23
Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
24
N'abagamba nti, “Mwekuume kye muwulira: mu kigera mwe mugera nammwe mwe muligererwa: era mulyongerwako.
25
Kubanga alina aliweebwa: n'atalina aliggibwako n'ekyo kyali nakyo.”
26
N'agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda buli ng'omuntu bw'amansa ensigo ku ttaka;
27
ne yeebaka n'agolokoka ekiro n'emisana, n'ensigo n'emeruka n'ekula, ye nga tamanyi bw'emeruse.
28
Ensi ebala yokka, okusooka kalagala, ate kirimba, ate ŋŋaano enkulu mu kirimba.
29
Naye emmere bw'eyengera, amangwago assaako ekiwabyo, kubanga okukungula kutuuse.”
30
N'agamba nti, “Kiki kye tunaageraageranya n'obwakabaka bwa Katonda? Oba tukozesa lugero ki okubunnyonnyola?
31
Bufaanana ng'akaweke aka kaladaali, ako, bwe kasigibwa mu ttaka, newakubadde nga ke katono okukira ensigo zonna eziri mu nsi,
32
naye bwe kasigibwa kakula, kaba kanene okukira enva zonna, kasuula amatabi amanene; ennyonyi ez'omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”
33
N'abagamba ekigambo mu ngero nnyingi ng'ezo, nga bwe bayinza okukiwulira;
34
teyayogera nabo awatali lugero, naye bwe yaba nga yekka n'abayigirizwa be n'abannyonnyola byonna.
35
Awo ku lunaku olwo bwe bwali buwungedde, n'abagamba nti, “Tuwunguke tutuuke emitala eri.”
36
Abayigirizwa ne baleka ekibiina, ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye nga bwe yali. Era n'amaato amalala gaali naye.
37
Awo omuyaga mungi ne gujja, amayengo ne gayiika mu lyato, n'eryato ne litandika okujjula amazzi.
38
Yesu ye yali mabega mu lyato nga yeebase ku mutto, ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tofaayo nga tufa?”
39
N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, n'agamba ennyanja nti, “Sirika, teeka.” Omuyaga ne gukkakkana, n'eba nteefu nnyo.
40
N'abagamba nti, “Kiki ekibatiisa? Temunnaba kuba na kukkiriza?”
41
Ne batya nnyo, ne bagambagana nti, “Kale ono ye ani, omuyaga n'ennyanja gwe bigondera?”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16