bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 7
Mark 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
1
Awo Abafalisaayo n'abawandiisi abamu, abaava e Yerusaalemi ne bakuŋŋaanira awali Yesu.
2
Ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga balya emmere n'engalo embi, okugamba, ze zitanaabiddwa.
3
Kubanga Abafalisaayo, n'Abayudaaya bonna, tebaalyanga mmere nga tebamaze kunaaba nnyo ngalo zaabwe, nga obulombolombo obw'abakadde bwe bulagira.
4
Era bwe bavanga mu katale, nga tabasobola kulya nga tebannaba kwetukuza; era waliwo n'ebirala bingi bye baaweebwa okukwata, okunaazanga ebikompe, n'ebibya, n'entamu ez'ebikomo.
5
Awo Abafalisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti, “ Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo obw'abakadde, naye ne balya emmere n'engalo embi? ”
6
N'abagamba nti, Isaaya yalagula bulungi ku mmwe bannanfuusi, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, Naye emitima gyabwe gindi wala.
7
Naye bansinziza bwereere, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata.”
8
Muleka etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bw'abantu.
9
N'abagamba nti, “Mugaanira ddala bulungi etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bwammwe.
10
Kubanga Musa yayogera nti, ‘Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko; era nti Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi,’
11
naye mmwe mwogera nti, ‘Omuntu bw'agamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa ye Kolubaani’ (ekitegeezebwa nti Kitone kya Katonda),
12
temukyamuganya okukolera ekintu kitaawe oba nnyina;
13
mudibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe, bwe mwayigiriza: era mukola ebigambo ebirala bingi ng'ebyo.”
14
Awo Yesu n'ayita ebibiina, n'abagamba nti, “Mumpulire mwenna, mutegeere;
15
tewali kintu ekiri ebweru w'omuntu bwe kiyingira mu ye, ekiyinza okumwonoona, naye ebintu ebiva mu muntu, ebyo bye byonoona omuntu.
16
Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
17
Awo bwe yayingira mu nnyumba ng'avudde mu bibiina, abayigirizwa be ne bamubuuza olugero olwo.
18
N'abagamba nti, “Bwe mutyo nammwe temutegedde? Temutegeera nti, kyonna ekiri ebweru bwe kiyingira mu muntu, tekiyinza kumwonoona;
19
kubanga tekiyingira mu mutima gwe, naye mu lubuto lwe, ne kiyita ne kigenda mu kabuyonjo?” Yayogera bw'atyo ng'alongoosa ebiriibwa byonna.
20
N'agamba nti, “Ekiva mu muntu, kye kyonoona omuntu.
21
Kubanga munda, mu mitima gy'abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba,
22
okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusiru:
23
ebibi ebyo byonna biva munda, ne byonoona omuntu.”
24
Awo Yesu n'avaayo n'agenda mu bitundu bye Ttuulo n'e Sidoni. N'ayingira mu nnyumba, n'atayagala muntu kutegeera, naye ne kitasoboka.
25
Naye amangwago omukazi eyalina muwala we eyaliko dayimooni, bwe yamuwulira n'ajja n'afukamira ku bigere bye.
26
Omukazi yali Muyonaani, eggwanga lye Musulofoyiniiki. N'amwegayirira okugoba dayimooni ku muwala we.
27
Yesu n'agamba omukazi nti, “Leka abaana bamale okukkuta; kubanga si kirungi okuddira emmere y'abaana okugisuulira embwa.”
28
Naye omukazi n'amuddamu nti, “Weewaawo, Mukama wange: n'embwa ziriira wansi w'emmeeza obukunkumuka bw'abaana.”
29
Yesu n'amugamba nti, “Olw'ekigambo ekyo, weddireyo; dayimooni avudde ku muwala wo.”
30
N'addayo mu nnyumba ye, n'asanga omuwala ng'agalamizibbwa ku kitanda, ne dayimooni ng'amuvuddeko.
31
Ate n'ava mu bitundu bye Ttuulo, n'agenda e Sidoni, eyo gye yava n'addayo ku nnyanja ey'e Ggaliraaya nga ayitira mu kitundu ky'e Dekapoli.
32
Ne bamuleetera omuggavu w'amatu, atayogera bulungi; ne bamwegayirira okumussaako omukono gwe.
33
N'amuggya mu kibiina kyama, n'amussa engalo mu matu ge, n'awanda amalusu, n'amukoma ku lulimi;
34
n'atunula waggulu mu ggulu, n'assa ekikkowe, n'alyoka amugamba nti, “Efasa,” ekitegeeza nti, “ Gguka.”
35
Amatu ge ne gagguka n'enkolo y'olulimi lwe n'esumulukuka n'ayogera bulungi.
36
N'abakuutira baleme okubuulirako muntu; naye nga bwe yeeyongera okubakuutira, bwe beeyongera ennyo nnyini okukibunya.
37
Ne bawuniikirira nnyo nnyini kitalo nga bagamba nti, “ Ebintu byonna abikoze bulungi, olaba aggula abaggavu b'amatu, era n'ayogeza ne bakasiru!”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16