bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 3
Mark 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
1
N'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze.
2
Ne bamutunulira nnyo okulaba oba anaamuwonyeza ku lunaku lwa ssabbiiti, balyoke bamuwawaabire.
3
Awo Yesu n'agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati awo.”
4
Awo n'abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola obubi? kuwonya bulamu oba kutta?” Naye ne basirika busirisi.
5
Bwe yabeetoolooza amaaso n'obusungu, ng'anakuwadde olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, n'agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N'agugolola: omukono gwe ne guwona.
6
Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n'Abakerodiyaani ku ye, nga bwe banaamuzikiriza.
7
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja, ekibiina kinene ekyava e Ggaliraaya ne kimugoberera; era n'abalala ne bava mu Buyudaaya
8
n'e Yerusaalemi ne Idumaya n'emitala wa Yoludaani, n'okwetooloola Ttuulo n'e Sidoni, ekibiina kinene, bwe baawulira bye yakola, ne bajja gy'ali.
9
N'agamba abayigirizwa be bamusembereze eryato limubeerenga kumpi ekibiina kireme okumunyigiriza;
10
kubanga yawonya bangi, ne bonna abalina endwadde bali benyigiriza bamukwateko bawonyezebwe.
11
Era emyoyo emibi buli lwe gyamulabanga ne gigwa mu maaso ge ne gikaaba nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.”
12
Naye n'agikomako gireme okumwatuukiriza.
13
Awo n'alinnya ku lusozi n'ayita abo be yayagala, ne bajja gy'ali.
14
N'alondamu kkumi n'ababiri okubeeranga awamu naye, era abatumenga okubuulira
15
n'okuba n'obuyinza okugobanga emizimu.
16
Yalonda Simooni n'amutuuma erinnya Peetero;
17
ne Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo: bano n'abatuuma amannya Bowanerege, amakulu gaalyo nti, “Baana ba kubwatuka.”
18
ne Andereya ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo, ne Simooni Omukananaayo,
19
ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe. N'ajja mu nnyumba,
20
ekibiina ne kikuŋŋaana nate, n'okuyinza ne batayinza na kulya mmere.
21
Awo ababe bwe baawulira ne bafuluma okumukwata, kubanga abantu baali bagamba nti, “Alaluse.”
22
Naye abawandiisi abaaserengeta okuva e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli, era agoba dayimooni ku lwo mukulu wa badayimooni oyo.”
23
N'abayita gy'ali, n'abagambira mu ngero nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani?
24
Obwakabaka bwe bwawukanamu bwo bwokka, obwakabaka obwo tebuyinza kuyimirira.
25
N'ennyumba bw'eyawukanamu yo yokka, ennyumba eyo teriyinza kuyimirira.
26
Era oba Setaani yeegolokokeddeko ye yekka, n'ayawukanamu, tayinza kuyimirira, wabula aba yeezikiriza yekka.
27
Naye tewali muntu ayinza okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi okunyaga ebintu bye, nga tasoose kusiba oyo ow'amaanyi, n'alyoka anyaga ennyumba ye.
28
Mazima, mbagamba nti, Abaana b'abantu balisonyiyibwa ebibi byabwe byonna, n'obuvvoozi bwabwe bwe balivvoola bwonna;
29
naye oyo yenna anavvoolanga Omwoyo Omutukuvu talina kusonyiyibwa emirembe n'emirembe, naye aba azzizza omusango ogw'ekibi eky'emirembe n'emirembe.”
30
Yesu yayogera bwati kubanga baayogera nti, “Aliko omwoyo omubi.”
31
Awo nnyina ne baganda be ne bajja, ne bamutumira ne bamuyita nga bayimiridde wabweru.
32
N'ekibiina kyali kitudde nga bamwetoolodde; ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo bali wabweru bagala okukulaba.”
33
N'abaddamu ng'agamba nti, “Ani mmange ne baganda bange be baani?”
34
Awo ne yeetoolooza amaaso ku baali batudde enjuyi zonna nga bamwetoolodde n'agamba nti, “ Laba mmange ne baganda bange!
35
Kubanga buli muntu yenna akola Katonda by'ayagala, oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16