bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 11
Mark 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
1
Awo bwe baali banaatera okutuuka e Yerusaalemi nga batuuse e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri,
2
n'abagamba nti, “Mugende mu mbuga ebali mu maaso: amangwago bwe munaayingira omwo, munaalaba omwana gw'endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu n'akatono; muguyimbule, muguleete.
3
Omuntu bw'abagamba nti, ‘Mukola ki ekyo?’ mugamba nti, ‘Mukama waffe ye agwetaaga;’ amangwago anaaguweereza eno.”
4
Ne bagenda, ne basanga omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa ku mulyango ebweru mu luguudo; ne baguyimbula.
5
Abamu ku abo abaali bayimiridde awo ne babagamba nti, “ Mukola ki okuyimbula omwana gw'endogoyi?”
6
Ne babagamba nga Yesu bwe yabagamba: ne babaleka.
7
Ne baleeta omwana gw'endogoyi eri Yesu, ne bagusuulako engoye zaabwe; n'agwebagala.
8
Bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne baaliira amalagala g'emiti, ge baatema mu nnimiro.
9
Abaali bakulembedde n'abaali bava emabega ne boogerera waggulu nti, “ Ozaana; Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama:
10
Buweereddwa omukisa obwakabaka obujja, obwa jjajjaffe Dawudi: Ozaana waggulu ennyo.”
11
N'atuuka mu Yerusaalemi n'ayingira mu Yeekaalu; bwe yamala okwetoolooza amaaso okulaba byonna, obudde bwali nga buwungeera, n'afuluma n'agenda e Bessaniya n'ekkumi n'ababiri (12).
12
Awo enkeera, bwe baali bavudde e Bessaniya n'alumwa enjala.
13
Awo bwe yalengera omutiini oguliko amalagala, n'agutuukako, alabe oba nga anaasangako ekibala kyonna, awo bwe yagutuukako, n'atalabako bibala wabula amalagala; kubanga si bye byali ebiro by'ettiini.
14
N'addamu n'agugamba nti, “Okusooka leero okutuusa emirembe n'emirembe omuntu talyanga ku bibala byo.” Abayigirizwa be ne bawulira.
15
Awo ne batuuka e Yerusaalemi, n'ayingira mu Yeekaalu, n'atandika okugobamu abaali batunda n'abagulira mu Yeekaalu, n'avuunika emmeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'entebe z'abo abaali batunda amayiba;
16
n'ataganya muntu okuyisa ekintu kyonna mu Yeekaalu.
17
N'ayigiriza, n'abagamba nti, “ Tekyawandiikibwa nti, ‘ Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu amawanga gonna?’ Naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”
18
Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baakiwulira, ne basala amagezi bwe banaamutta: kubanga baamutya, kubanga ebibiina byonna baawuniikirira olw'okuyigiriza kwe.
19
Awo buli kawungeezi yafulumanga mu kibuga.
20
Awo enkeera ku makya, bwe baali nga bayita, ne balaba omutiini nga guvudde ku kikolo okukala.
21
Peetero bwe yajjukira n'amugamba nti, “Labbi, laba, omutiini gwe wakolimira gukaze.”
22
Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Mube n'okukkiriza mu Katonda.
23
Mazima mbagamba nti Buli aligamba olusozi luno nti, ‘ Sigulibwa, osuulibwe mu nnyanja;’ nga tabuusabuusa mu mutima gwe naye ng'akkiriza nga ky'ayogera kikolebwa, alikiweebwa.
24
Kyenva mbagamba nti Ebigambo byonna byonna bye musaba n'okwegayirira, mukkirize nga mubiweereddwa, era mulibifuna
25
Awo bwe munaayimiriranga nga musaba, musonyiwenga, bwe mubanga n'ekigambo ku muntu; ne Kitammwe ali mu ggulu abasonyiwe ebyonoono byammwe.
26
Naye bwe mutasonyiwa, era ne Kitammwe ali mu ggulu talisonyiwa byonoono byammwe.”
27
Ate ne batuuka e Yerusaalemi; awo bwe yali ng'atambula mu Yeekaalu, ne bajja w'ali bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde;
28
ne bamugamba nti, “ Buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza buno okukola bino?”
29
Awo Yesu n'abagamba nti, “ Nange ka mbabuuze mmwe ekigambo kimu, munziremu, nange nnaababuulira mmwe obuyinza bwe buli obunkoza bino.
30
Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu, nantiki mu bantu? Munziremu.”
31
Ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti, “ Bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu ggulu;’ anaagamba nti, ‘ Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?’
32
Naye tugambe nti, ‘Kwava mu bantu? ’ ” Baatya abantu; kubanga bonna baalowooza mazima Yokaana okuba nnabbi.
33
Ne baddamu Yesu, ne bamugamba nti, “ Tetumanyi.” Yesu n'abagamba nti, “Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16