bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 13
Mark 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
1
Awo bwe yafuluma mu Yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja gano bwe gali, n'enzimba eno bw'eri.”
2
Yesu n'amugamba nti, “ Olaba ebizimbe bino eby'ekitalo? Tewalisigala wano jjinja na limu ku linnaalyo eritalisuulibwa wansi.”
3
Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni ng'ayolekedde Yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama nti,
4
“Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era akabonero ki akalibaawo ng'ebyo byonna bigenda okutuukirira?”
5
Yesu n'atandika okubagamba nti, Mwekuume, omuntu yenna tabakyamyanga.
6
Bangi abalijja mu linnya lyange nga boogera nti, Nze nzuuyo; era balikyamya bangi.
7
Awo bwe muwuliranga entalo n'ettutumo ly'entalo, temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekyali.
8
Kubanga eggwanga lirirumba ggwanga linnaalyo, n'obwakabaka obwakabaka bunnaabwo: walibaawo ebikankano mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo lwe lubereberye lw'okulumwa.
9
Naye mwekuume mwekka: kubanga balibawaayo mu nkiiko: mulikubirwa ne mu makuŋŋaaniro; era muliyimirira mu maaso g'abaamasaza ne bakabaka ku lwange, okubeera abajulirwa mu bo.
10
Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna.
11
Era bwe babatwalanga okubawaayo, temusookanga kweraliikirira bwe munaayogera: naye kyonna kyonna kye muweebwanga mu kiseera ekyo, ekyo kye mwogeranga, kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo Omutukuvu.
12
Ow'oluganda anaawangayo muganda we okumutta, ne kitaawe w'omwana anaamuwangayo; abaana banaajeemeranga abaabazaala, banaabassissanga.
13
Munnaakyayibwanga bonna olw'erinnya lyange: naye agumiikiriza okutuusa enkomerero oyo ye alirokoka.
14
Naye bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza nnabbi Danyeri kye yayogerako nga kiyimiridde awatakisaanira (asoma ategeere) kale abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi;
15
ali waggulu ku nju takkanga, so tayingiranga kuggyamu kintu mu nju ye:
16
n'ali mu nnimiro taddanga kutwala lugoye lwe.
17
Naye ziribasanga abaliba embuto, n'abaliba bayonsa mu nnaku ezo.
18
Musabe bireme okutuukira mu kiseera eky'obutiti.
19
Kubanga ennaku ezo ziriba za kulabiramu nnaku, nga tezibangawo bwe zityo kasookedde Katonda atonda ebyatondebwa okutuusa kaakano, era teziriddamu nate.
20
Era singa Mukama teyasala ku nnaku ezo, tewandirokose muntu yenna, naye olw'abalonde be yalonda yazisalako.
21
Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano; oba ali wali; temukkirizanga:
22
kubanga bakristo ab'obulimba ne bannabbi ab'obulimba balijja, balikola obubonero n'ebyewuunyo, okukyamya, oba nga kiyinzika n'abalonde.
23
Naye mwekuume mmwe: laba, mbabuulidde byonna nga tebinnabaawo.
24
Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erikwata ekizikiza, n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo,
25
n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa.
26
Kale ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi amangi n'ekitiibwa.
27
Awo n'alyoka atuma bamalayika be, alikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'eggulu.
28
Era muyigire ku mutiini, ettabi lyagwo bwe ligejja n'amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'omwaka guli kumpi;
29
era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bituuse, mutegeere ng'ali kumpi, ku luggi.
30
Mazima mbagamba nti, Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono, okutuusa ebyo byonna lwe birituukirira.
31
Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.
32
Naye eby'olunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali amanyi, newakubadde bamalayika abali mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange.
33
Mwekuumenga, mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira.
34
Ng'omuntu eyaleka ennyumba ye n'atambula mu nsi endala ng'awadde abaddu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe, n'alagira omuggazi okutunula.
35
Kale mutunule: kubanga temumanyi mukama w'ennyumba w'alijjira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba ng'enkoko ekookolima, oba nkya;
36
si kulwa ng'akomawo amangwago n'abasanga nga mwebase.
37
Era kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti, Mutunule.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16