bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 14
Mark 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
1
Awo bwe waali wakyabulayo ennaku bbiri, embaga y'Okuyitako ne y'emigaati egitazimbulukusiddwa okutuuka, bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamukwata bamutte;
2
kubanga baagamba nti, “Si ku lunaku lwa mbaga, kubanga abantu bayinza okuleetawo akegugungo.”
3
Awo bwe yali mu Bessaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde ku mmere, omukazi eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ogw'omuwendo omungi ennyo n'ajja, n'ayasa eccupa, amafuta n'agafuka ku mutwe gwa Yesu.
4
Naye waaliwo mu bo abamu abaasunguwala ne beebuuza nti, “ Amafuta gafudde ki bwe gatyo?
5
Kubanga amafuta gano ganditundiddwa eddinaali bisatu (300) n'okusingawo ne ziweebwa abaavu.” Ne bamwemulugunyiza.
6
Naye Yesu n'agamba nti, “Mumuleke; mumunakuwaliza ki? Ankoledde ekikolwa ekirungi.
7
Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; na buli lwe mwagala muyinza okubakola obulungi: naye nze temuli nange bulijjo.
8
Akoze nga bw'ayinzizza: asoose okufuka amafuta ku mubiri gwange nga bukyali okunziika.
9
Mazima mbagamba nti Enjiri buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, kino omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.”
10
Awo Yuda Isukalyoti, eyali omu ku kkumi n'ababiri (12), n'agenda eri bakabona abakulu alabe bw'anaalyamu Yesu olukwe abamuwe.
11
Awo bwe baawulira ne basanyuka, ne basuubiza okumuwa effeeza. N'anoonya ebbanga wanaamuliramu olukwe.
12
Awo ku lunaku olwasooka olw'embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa kwe battira omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tugende wa tutegeke gy'onooliira Okuyitako?”
13
N'atuma ab'oku bayigirizwa be babiri, n'abagamba nti, “Mugende mu kibuga, anaasisinkana nammwe omusajja nga yeetisse ensuwa y'amazzi: mumugoberere;
14
muyingire mu nnyumba mw'anaayingira, mugambe nnannyini nnyumba nti, ‘Omuyigiriza agambye nti, Ekisenge kiri ludda wa mwe nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange?’
15
Anaabalaga ye yennyini ekisenge ekinene ekya waggulu ekitegeke era ekirongooseddwa, mututegekere omwo.”
16
Awo abayigirizwa ne bagenda ne bajja ku kibuga, ne balaba nga bwe yabagambye: ne bategeka Okuyitako.
17
Awo bwe bwawungeera n'ajja n'ekkumi n'ababiri (12).
18
Awo bwe baali batudde ku mmere, Yesu n'agamba nti, “ Mazima mbagamba nti Omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”
19
ne batandika okunakuwala, n'okumubuuza kinnoomu nti, “Ye nze?”
20
N'abagamba nti, “Omu ku kkumi n'ababiri (12) akoza nange mu kibya ye wuuyo.
21
Kubanga Omwana w'omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikwako: naye zirimusanga omuntu oyo alyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”
22
Awo bwe baali balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n'agumenyamu, n'abawa, n'agamba nti, “Mutoole; guno gwe mubiri gwange.”
23
Ate n'addira ekikompe, awo bwe yamala okwebaza, n'akibawa; ne bakinywako bonna.
24
N'abagamba nti, “Guno gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika olw'abangi.
25
Mazima mbagamba nti Sirinywa nate ku kibala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kiggya mu bwakabaka bwa Katonda.”
26
Awo bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
27
Awo Yesu n'abagamba nti, “Muneesittala mwenna: kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba, n'endiga zirisaasaana.’
28
Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda mu Ggaliraaya.”
29
Naye Peetero n'amugamba nti, “Newakubadde nga bonna baneesittala, naye si nze.”
30
Yesu n'amugamba nti, “ Mazima nkugamba nti ggwe leero, ekiro kino, enkoko eneeba tennakookolima emirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.”
31
Naye ne yeeyongera nnyo okwogera nti, “Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono.” Era bonna ne bagamba bwe batyo.
32
Awo ne bajja mu kifo erinnya lyakyo Gesusemane: n'agamba abayigirizwa be nti, “Mutuule wano mmale okusaba.”
33
N'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana wamu naye, n'atandika okuwuniikirira n'okweraliikirira ennyo.
34
N'abagamba nti, “ emmeeme yange eriko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule.”
35
N'atambulako katono, n'avuunama n'asaba, oba nga kiyinzika, ekiseera kimuyiteko.
36
N'agamba nti, “Aba, Kitange, byonna biyinzika gy'oli; nzigyako ekikompe kino; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.”
37
Awo n'ajja, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti, “Simooni, weebase? Tosobodde kutunula wadde essaawa emu bw'eti?
38
Mutunule, musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”
39
Nate n'addayo, n'asaba, n'ayogera ebigambo bye bimu na biri.
40
N'akomawo nate, n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Ne batamanya kya kumuddamu.
41
N'ajja omulundi ogwokusatu, n'abagamba nti, “ Mwebakire ddala kaakano, muwummule: kinaamala; ekiseera kituuse; laba, Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abalina ebibi.
42
Muyimuke, tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.”
43
Awo amangwago, bwe yali akyayogera, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri (12), n'ajja n'ekibiina wamu naye abaalina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu, n'abawandiisi n'abakadde.
44
Yuda eyamulyamu olukwe yali abawadde akabonero nti, “Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.”
45
Awo bwe yatuuka, amangwago n'ajja gy'ali n'agamba nti, “Labbi;” n'amunywegera nnyo.
46
Ne bamussaako emikono gyabwe, ne bamukwata.
47
Naye omu ku abo abaali bayimiridde awo n'asowola ekitala, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu.
48
Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Munjijiridde nga bwe mujjira omunyazi, n'ebitala n'emiggo okunkwata?
49
Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu Yeekaalu nga njigiriza, nga temwankwata: naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa bituukirire.”
50
Awo bonna ne bamwabulira ne badduka.
51
Awo omulenzi omu n'amugoberera, eyali yeebikkiridde olugoye olw'ekitaani lwokka ku mubiri: ne bamukwata;
52
naye n'abalekera olugoye olw'ekitaani, n'adduka bwereere.
53
Awo ne batwala Yesu eri kabona asinga obukulu. Bakabona abakulu bonna n'abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaana.
54
Awo Peetero n'agoberera Yesu ng'ali walako, n'atuuka munda mu luggya lwa kabona asinga obukulu, n'atuula n'abakuumi ng'ayota omuliro.
55
Awo bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubula.
56
Kubanga bangi abaaleeta obujulizi obw'obulimba ku ye, era obujulizi bwabwe bwali bukoonagana.
57
Awo abamu ne bayimuka ne bamuwaayiriza, nga bagamba nti,
58
“Ffe twamuwulira ng'agamba nti, ‘Ndimenya Yeekaalu eno eyakolebwa n'emikono, ne mu nnaku ssatu ndizimba endala etalikolebwa na mikono.’ ”
59
Era n'obujulizi obwo tebwakwatagana.
60
Awo kabona asinga obukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yesu, nti, “Ggwe toyanukula n'akatono? Kiki kye bakulumiriza bano?”
61
Naye n'asirika busirisi, n'atayanukula n'akatono. Nate kabona asinga obukulu n'amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w'oyo eyeebazibwa?”
62
Yesu n'agamba nti, “Ye Nze, nammwe muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajja n'ebire eby'eggulu.”
63
Awo kabona asinga obukulu n'ayuza engoye ze, n'agamba nti, “Twetaagira ki nate abajulirwa?
64
Muwulidde obuvvoozi bwe: mulowooza mutya?” Bonna ne bamusalira omusango ng'asaanira okufa.
65
Awo abamu ne batandika okumuwandira amalusu, n'okumubikka mu maaso, n'okumukuba ebikonde n'okumugamba nti, “Lagula.” Abakuumi nabo ne bamutwala nga bamukuba empi.
66
Awo Peetero bwe yali wansi mu luggya, omu ku bazaana bakabona asinga obukulu n'ajja;
67
awo bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amutunuulira, n'amugamba nti, “Naawe wali n'Omunazaaleesi, Yesu.”
68
Naye ye ne yeegaana ng'agamba nti, “ Simanyi, so sitegeera ky'oyogera.” N'agenda ebweru mu kisasi; enkoko n'ekookolima.
69
Awo omuzaana n'amulaba, n'atandika era okubagamba abaali bayimiridde awo nti, “ Omusajja oyo omu ku bo.”
70
Peetero n'ayongera okwegaana. Awo bwe waayitawo ekiseera kitono, abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nate nti, “Mazima oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya.”
71
Peetero n'atandika okukolima n'okulayira nti, “Simanyi muntu ono gwe mwogerako.”
72
Amangwago enkoko n'ekookolima omulundi ogwokubiri. Awo Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu bwe yamugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n'atulika n'akaaba amaziga.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16