bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 12
Mark 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
1
Awo Yesu n'atandika okwogerera nabo mu ngero ng'agamba nti, “ Omuntu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alwetooloozako olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu ekigo, n'alupangisa abalimi, n'agenda mu nsi endala.
2
Awo omwaka bwe gwatuuka n'atuma omuddu eri abalimi, abalimi bamuwe ebibala by'emizabbibu gye.
3
Ne bamukwata, ne bamukuba, n'addayo ngalo nsa.
4
Ate n'abatumira omuddu omulala, oyo ne bamukuba olubale, ne bamuswaza.
5
N'atuma omulala; oyo ne bamutta: n'abalala bangi; abamu nga babakuba, abalala nga babatta.
6
Yali asigazzaawo omu yekka ow'okutuma, ye mutabani we omwagalwa, bw'atyo n'amutuma gyebali, ng'agamba nti, ‘Bajja kussaamu mutabani wange ekitiibwa.’
7
Naye abalimi bali ne bateesa bokka na bokka nti, ‘Ono ye musika, kale tumutte, n'obusika buliba bwaffe.’
8
Ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'olusuku lw'emizabbibu.
9
Kiki nannyini lusuku lw'emizabbibu kyalikola? Alijja, alizikiriza abalimi, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa balala.”
10
Temusomanga n'akatono ekyo ekyawandiikibwa nti, “Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lyafuulibwa omutwe ogw'oku nsonda:
11
Ekyo kyava eri Mukama, Era kya kitalo mu maaso gaffe?”
12
Ne basala amagezi okumukwata; ne batya ebibiina: kubanga baategeera ng'ageredde ku bo olugero olwo: ne bamuleka, ne bagenda.
13
Ne batuma gy'ali ab'omu Bafalisaayo n'Abakerodiyaani okumutega mu bigambo.
14
Awo bwe bajja, ne bamugamba nti, “ Omuyigiriza, tumanyi ggwe ng'oli wa mazima, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu, naye oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima: kale kirungi okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo?
15
Tuwengayo, oba tetuwangayo?” Naye bwe yategeera bunnanfuusi bwabwe, n'abagamba nti, “ Munkemera ki? Mundeetere eddinaali, ngirabe.”
16
Ne bagireeta. N'abagamba nti, “Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko buno by'ani?” Ne bamugamba nti, “ Bya Kayisaali.”
17
Yesu n'abagamba nti, “ Ebya Kayisaali mumuwenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumuwenga Katonda.” Ne bamwewuunya nnyo.
18
Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja w'ali; ne bamubuuza nti,
19
“Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga, n'aleka mukazi we, nga tazadde mwana, muganda we atwalanga mukazi we, n'azaalira muganda we abaana.
20
Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa, nga talese baana;
21
ow'okubiri n'amuwasa, n'afa, era naye nga talese baana; n'ow'okusatu bw'atyo:
22
bonna omusanvu ne bafa nga tebalesewo baana. Oluvannyuma bonna nga baweddewo n'omukazi n'afa.
23
Kale bwe balizuukira aliba muka ani ku bo? Kubanga bonna omusanvu baamuwasa.”
24
Yesu n'abagamba nti, “Si kyemuva mukyama nga temumanyi ebyawandiikibwa newakubadde amaanyi ga Katonda?
25
Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebaliwasa, so tebaliwayira; naye baliba nga bamalayika ab'omu ggulu.
26
Naye eby'abafu okuzuukizibwa; temusomanga mu kitabo kya Musa ku Kisaka, Katonda bwe yamubuulira ng'agamba nti, ‘ Nze ndi Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo?
27
Si Katonda wa bafu, naye wa balamu,’ mukyama nnyo.”
28
Awo omu ku bawandiisi n'ajja n'awulira nga beebuuzaganya bokka na bokka, n'amanya ng'abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti, “ Tteeka ki ery'olubereberye ku gonna?”
29
Yesu n'addamu nti, “ Ery'olubereberye lye lino nti, ‘Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu;
30
era yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna.’
31
Eryokubiri lye lino nti, ‘ Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu.”
32
Omuwandiisi n'amugamba nti, “Mazima, Omuyigiriza, oyogedde bulungi nga Katonda ali omu. So tewali mulala wabula ye:
33
n'okumwagala n'omutima gwonna, n'okutegeera kwonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kusinga nnyo ebiweebwayo byonna ebiramba ebyokebwa ne ssaddaaka.”
34
Awo Yesu bwe yalaba ng'amuzzeemu ng'omutegeevu, n'amugamba nti, “ Toli wala obwakabaka bwa Katonda.” Awo ne wataba muntu ayaŋŋaanga okumubuuza nate.
35
Yesu bwe yali ng'ayigiriza mu Yeekaalu n'abuuza nti, “Lwaki abawandiisi bagamba nti, Kristo mwana wa Dawudi?”
36
Dawudi yennyini yagamba mu Mwoyo Omutukuvu nti, “Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.”
37
Dawudi yennyini amuyita Mukama we, abeera atya omwana we? Ab'omu kibiina ne bamuwulira n'essanyu.
38
Awo mu kuyigiriza kwe n'abagamba nti, “Mwekuume abawandiisi abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu, n'okulamusibwa mu butale,
39
n'entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro n'ebifo eby'ekitiibwa mu mbaga;
40
abalya ennyumba za bannamwandu, era abasaba ennyo mu bunnanfuusi; abo balizza omusango ogusinga obunene.”
41
Awo Yesu n'atuula okwolekera eggwanika, n'alaba ebibiina bwe bisuula ensimbi mu ggwanika: bangi abaali abagagga abaasuulamu ebingi.
42
Awo nnamwandu omu omwavu n'ajja, n'asuulamu ebitundu bibiri, ye kodulante.
43
N'ayita abayigirizwa be, n'abagamba nti, “ Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika:
44
kubanga bonna basuddemu ku bibafikkiridde; naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16