bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Mark 8
Mark 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
1
Awo mu nnaku ezo, ekibiina ne bwe kyakuŋŋaana, ne bataba na mmere ya kulya, n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti,
2
“Nsaasira ekibiina, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, era tebalina kya kulya;
3
bwe mbasiibula okuddayo ewaabwe nga tebalidde, bajja kuzirikira mu kkubo, ate ng'abamu ku bo baava wala.”
4
Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Omuntu anaayinza atya okukkusa abantu bano emigaati wano mu ddungu?”
5
N'ababuuza nti, “ Mulina emigaati emeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.”
6
Awo Yesu n'alagira ekibiina okutuula wansi. N'addira emigaati omusanvu, ne yeebaza, n'agimenyaamenyaamu, n'awa abayigirizwa be, okugissa mu maaso gaabwe; ne bagissa mu maaso g'ekibiina.
7
Era baali balina obw'ennyanja butono, nabwo n'abwebaza, n'alagira n'abwo okubussa mu maaso gaabwe.
8
Ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo ebisero musanvu.
9
Baali ng'enkumi nnya (4,000) n'abasiibula.
10
Amangwago n'asaabala mu lyato n'abayigirizwa be, n'ajja mu kitundu ky'e Dalumanusa.
11
Abafalisaayo ne bajja gy'ali ne batandika okuwakana naye nga banoonya gy'ali akabonero akava mu ggulu, nga bamukema.
12
Yesu n'assa ekikkowe, n'agamba nti, “Ab'Emirembe gino banoonyeza ki akabonero? Mazima mbagamba nti, ab'Emirembe gino tebaliweebwa kabonero.”
13
N'abaleka, n'asaabala nate n'agenda ku ludda olulala olw'ennyanja.
14
Awo abayigirizwa ne beerabira okutwala emigaati; baalina omugaati gumu gwokka mu lyato.
15
N'abakuutira ng'agamba nti, “ Munywere, mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'ekizimbulukusa kya Kerode.”
16
Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti, “Tetulina migaati.”
17
Yesu bwe yategeera n'abagamba nti, “Kiki ekibeebuuzaganyisa olw'obutaba na migaati? Temunnalaba, so temutegeera? Emitima gyammwe mikakanyavu?
18
Mulina amaaso, temulaba? Mulina amatu, temuwulira? So temujjukira?
19
Bwe nnamenyera enkumi ettaano (5,000) emigaati etaano, ebibbo bimeka ebyajjula obukunkumuka bwe mwakuŋŋaanya?” Ne bamugamba nti, “Kkumi na bibiri (12).”
20
“Era bwe nnamenyera omusanvu enkumi ennya (4,000), mwakuŋŋaanya ebisero bimeka ebyajjula obukunkumuka?” Ne bamugamba nti, “Musanvu.”
21
N'abagamba nti, “Temunnategeera?”
22
Awo ne bajja e Besusayida. Ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe w'amaaso, ne bamwegayirira amukwateko.
23
N'akwata omuzibe w'amaaso ku mukono, n'amufulumya ebweru we kibuga. Awo bwe yawanda amalusu ku maaso ge, n'amussaako engalo, n'amubuuza nti, “Oliko ky'olaba?”
24
N'atunula waggulu n'agamba nti, “Ndaba abantu, kyokka bafaanana ng'emiti, nga batambula.”
25
Era nate Yesu n'ayongera okukwata ku maaso g'omusajja, omusajja n'akanula okulaba, n'awona, n'alaba byonna bulungi.
26
Yesu n'amusindika ewuwe, ng'amugamba nti, “Togezaako kuyingira mu kyalo.”
27
Awo Yesu n'asitula n'agenda n'abayigirizwa be mu bubuga bw'e Kayisaliya ekya Firipo. Naye bwe baali batambula, n'abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu bampita ani?”
28
Ne bamugamba nti, “Yokaana Omubatiza: n'abalala nti Eriya: naye abalala nti Omu ku bannabbi.”
29
Ye n'ababuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Ggwe Kristo.”
30
Yesu n'abakuutira baleme okukibuulirako omuntu yenna.
31
Awo Yesu n'atandika okubabuulira nti, kimugwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu, n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuyitawo ennaku essatu okuzuukira.
32
N'ayogera ekigambo ekyo mu lwatu. Peetero n'amuzza wabbali n'atandika okumunneya.
33
Yesu bwe yakyuka n'alaba abayigirizwa be, n'anenya Peetero, ng'agamba nti, “Dda emabega wange, Setaani: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.”
34
N'ayita ebibiina n'abayigirizwa be, n'abagamba nti, “Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere.
35
Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n'olw'Enjiri alibulokola.
36
Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n'okufiirwa obulamu bwe?
37
Kubanga omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe?
38
Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange mu mirembe gino egy'obwenzi era emibi, n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16