bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 1
Romans 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
1
Pawulo, omuddu wa Yesu Kristo, eyayitibwa okuba omutume, ne njawulibwa okubunyisa Enjiri ya Katonda,
2
gye yasuubiriza edda mu bannabbi be, ne mu byawandiikibwa ebitukuvu.
3
Enjiri ekwata ku Mwana we, eyazaalibwa mu zzadde lya Dawudi mu mubiri,
4
eyalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, ne mu mwoyo gw'obutukuvu, n'olw'okuzuukira kwe mu bafu; Yesu Kristo Mukama waffe,
5
okuyita mu ye mwe twafunira ekisa n'obutume, tuleete obugonvu bw'okukkiriza olw'erinnya lye mu mawanga gonna,
6
era nammwe muli mu bo, abayitibwa okuba aba Yesu Kristo;
7
eri bonna abali mu Ruumi, abaagalwa Katonda, abayitibwa okuba abatukuvu, ekisa kibe nammwe n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
8
Okusooka, nneebaza Katonda wange ku bwa Yesu Kristo ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kwogerwako mu nsi zonna.
9
Kubanga Katonda ye mujulirwa, gw'empeereza mu mwoyo gwange, mu njiri y'Omwana we, bw'entyo buli kiseera mboogerako bulijjo mu ssaala zange,
10
nga nneegayirira bulijjo mu kusaba kwange, Katonda bw'ayagala, ndyoke ntambuzibwe bulungi okujja gye muli.
11
Kubanga neegomba okubalabako, ndyoke mbawe ku kirabo eky'Omwoyo, mulyoke munywezebwe,
12
olwo fenna tuzibwemu amaanyi olw'okukkiriza kwaffe, okwammwe n'okwange.
13
Era, ab'oluganda, njagala mumanye ng'emirundi mingi nalowoozanga okujja gye muli, naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke mbeereko n'ebibibala by'enfuna mu mmwe, era nga ne mu b'amawanga amalala.
14
Nnina obuvunanyizibwa okuyamba Abayonaani era ne bannamawanga, ab'amagezi era n'abasirusiru.
15
Era kyenva njagala okubabuulira Enjiri nammwe abali mu Ruumi.
16
Kubanga Enjiri tenkwasa nsonyi; kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli akkiriza, okusookera ku Muyudaaya era n'Omuyonaani.
17
Kubanga mu Njiri Obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa obuva mu kukkiriza okutuuka mu kukkiriza; nga bwe kyawandiikibwa nti, “Naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.”
18
Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna, n'obutaba na butuukirivu bwonna obw'abantu abaziyiza amazima mu butaba na butuukirivu;
19
kubanga ebiyinza okumanyika ebya Katonda bimanyika birabika gyebali; kubanga Katonda yabibalaga.
20
Kubanga okuviira ddala ku kutonda ensi, embeera ye eterabika, kwe kugamba obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; birabikira ddala bulungi, nga bitegeererwa mu ebyo bye yatonda, bwe batyo babeere nga tebalina kya kuwoza;
21
kubanga newakubadde nga Katonda baamumanya, naye tebamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, wabula ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza.
22
Bwe beeyita ab'amagezi, so nga baasiruwala,
23
ne bawaanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okufaanana ekifaananyi ky'omuntu aggwaawo, n'eky'ebinyonyi, n'eky'ebisolo, n'eky'ebyewalula.
24
Katonda kyeyava abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emitima gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bokka na bokka,
25
kubanga amazima ga Katonda baagawaanyisaamu obulimba, ne basinzanga era ne baweerezanga ekitonde okusinga Omutonzi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
26
Katonda kyeyava abawaayo eri okukwatibwa okw'ensonyi; kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne bakifuula ekitali kya buzaaliranwa,
27
era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era bwe batyo ne beereetera ekibonerezo ekigwanira okwonoona kwabwe.
28
Era nga bwe batakkiriza kubeera ne Katonda mu magezi gaabwe, Katonda yabawaayo eri omwoyo ogutakkirizibwa, okukolanga ebitasaana;
29
nga bajjudde obutaba na butuukirivu bwonna, obubi, okwegomba, ettima; nga bajjudde obuggya, obussi, okuyomba, obukuusa, enge; abageya,
30
abalyolyoma, abakyawa Katonda, ab'ekyejo, ab'amalala, abeenyumiriza, abayiiya ebigambo ebibi, abatawulira bazadde baabwe,
31
abatalina magezi, abaleka endagaano, abataagalana, abatalina kusaasira:
32
era newakubadde bamanyi nga Katonda asala omusango, era nti abakola ebyo basaanidde kufa, tebabikola bukozi, era naye basiima ababikola.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16