bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 7
Romans 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
1
Oba temumanyi, ab'oluganda kubanga ŋŋamba abategeera amateeka, ng'amateeka gafuga omuntu ng'akyali mulamu?
2
Kubanga omukazi afugibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa, ng'asumuluddwa mu mateeka ga bba.
3
Kale bwe kityo bba bw'aba ng'akyali mulamu bw'anaabanga n'omusajja omulala, anaayitibwanga mwenzi, naye bba bw'afa, nga asumuluddwa eri amateeka, era bw'afumbirwa omusajja omulala olwo aba si mwenzi.
4
Bwe kityo, ab'oluganda, era nammwe mwafa ku mateeka olw'omubiri gwa Kristo, mubeere n'omulala, ye oyo eyazuukizibwa mu bafu, tulyoke tubalirenga Katonda ebibala.
5
Kubanga bwe twabanga mu mubiri, okwegomba okubi, okuliwo olw'amateeka, kwakolanga mu bitundu byaffe ne kubaliranga okufa ebibala.
6
Naye kaakano twasumululwa mu mateeka, bwe twafa ku ekyo ekyabanga kitufuga, tuleme okuweerereza mu nnukuta ez'edda, naye tuweerereze mu bulamu obuggya obw'Omwoyo.
7
Kale tunaayogera tutya? Amateeka kye kibi? Nedda, n'akatono. Naye ssanditegedde kibi, wabula mu mateeka, kubanga ssandimanye kwegomba, singa amateeka tegaayogera nti Teweegombanga:
8
naye ekibi bwe kyalaba omukisa mu mateeka, kyaleeta mu nze okwegomba okwengeri zonna. Kubanga awataba mateeka ekibi nga kifudde.
9
Nange edda nnabanga mulamu awatali mateeka, naye ekiragiro bwe kyajja, okwonoona ne kuzuukira, nange ne nfa;
10
n'ekiragiro ekyali eky'okuleeta obulamu, ekyo ne kirabika gye ndi nga eky'okuleeta okufa:
11
kubanga ekibi, bwe kyalaba we kisinziira olw'ekiragiro, ne kinnimba, era olw'ekiragiro ne kinzita.
12
Bwe kityo amateeka matukuvu, n'ekiragiro kitukuvu, kya mazima era kirungi.
13
Kale ekirungi kyaleeta okufa gye ndi? Nedda n'akatono! Kyali kibi ekyaleeta okufa mu nze nga kuyita mu kirungi, mu ngeri nti ekibi ekyo kirabisibwe okuba ekibi, era okuyita mu kiragiro nfuuke omwonoonyi ddala.
14
Kubanga tumanyi ng'amateeka ga mwoyo; naye nze ndi wa mubiri, natundibwa okufugibwanga ekibi.
15
Kubanga kye nkola, ssikimanyi; kubanga kye njagala si kye nkola; naye kye nkyawa kye nkola.
16
Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, nzikiriza nga amateeka amalungi.
17
Kale kaakano si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze.
18
Kubanga mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi; mpulira nga njagala okukola ekirungi, naye nga sisobola.
19
Kubanga kye njagala ekirungi ssikikola, naye kye ssaagala ekibi kye nkola.
20
Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze.
21
Bwe kityo ndaba etteeka nti, nze bwe njagala okukola ekirungi, ekibi kimbeera kumpi.
22
Kubanga nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow'omunda,
23
naye ndaba etteeka eddala mu bitundu byange nga lirwana n'etteeka ly'amagezi gange, era nga lindeeta mu bufuge wansi w'etteeka ly'ekibi eriri mu bitundu byange.
24
Nze nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri ogw'okufa kuno?
25
Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe kityo nze nzekka mu magezi ndi muddu wa mateeka ga Katonda, naye mu mubiri wa tteeka lya kibi.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16