bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 15
Romans 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
1
Era ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw'abo abatalina maanyi, so si kwesanyusanga fekka.
2
Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw'okuzimba.
3
Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka; naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti, “Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze.”
4
Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, bwe tutyo mu kugumiikiriza n'olw'okuzibwamu amaanyi ebyawandiikibwa tubeerenga ne ssuubi.
5
Era Katonda w'okugumiikiriza n'okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu,
6
mulyoke muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'eddoboozi limu.
7
Kale musembezaganyenga mwekka na mwekka, nga Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw'ekitiibwa kya Katonda.
8
Kubanga njogera nti Kristo yali muweereza w'abakomole olw'amazima ga Katonda, okunyweza ebyasuubizibwa eri bajjajja,
9
era ab'amawanga balyoke bawenga Katonda ekitiibwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikibwa nti, “Kyenaavanga nkutendereza mu b'amawanga, Era nnaayimbanga ku linnya lyo.”
10
Era nate ayogera nti, “Musanyukenga, mmwe ab'amawanga, wamu n'abantu be.”
11
Era nate nti, “Mutenderezenga Mukama, mmwe ab'amawanga mwenna; Era ebika byonna bimutenderezenga.”
12
Era nate Isaaya ayogera nti, “Waliba ekikolo kya Yese, Era ayimirira okufuga ab'amawanga; Mu ye mwe mulibeera essuubi ly'ab'amawanga.”
13
Era Katonda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n'emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi ag'Omwoyo Omutukuvu.
14
Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, nga muyinza n'okubuuliriragananga mwekka na mwekka.
15
Naye nneeyongedde okuguma katono okubawandiikira, nga mbajjukiza nate, olw'ekisa kye nnaweebwa Katonda,
16
nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga mpereeza mu bwa kabona Enjiri ya Katonda, ssaddaaka y'ab'amawanga eryoke esiimibwe ng'etukuzibwa Omwoyo Omutukuvu.
17
Kale okwenyumiriza ndi nakwo mu Kristo Yesu mu bya Katonda.
18
Kubanga siryaŋŋaanga kwogera kigambo kyonna wabula Kristo bye yankoza, olw'okuwulira kw'ab'amawanga, mu kigambo ne mu kikolwa,
19
mu maanyi g'obubonero n'eby'amagero, mu maanyi ag'Omwoyo Omutukuvu; bwe kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, n'abuulira Enjiri ya Kristo.
20
Bwentyo nduubirira okubuuliranga Enjiri, awo erinnya lya Kristo we litayogerwangako, nnemenga okuzimba ku musingi gw'omuntu omulala;
21
naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Baliraba abatabuulirwanga bigambo bye,” Era abatamuwulirangako balitegeera.
22
Era kyennavanga nziyizibwa emirundi emingi okujja gye muli:
23
naye kaakati, kubanga sikyalina kitundu kya kukoleramu mu nsi zino, era kubanga okuva mu myaka mingi nnali njagala okujja gye muli,
24
nsuubira okubalabako nga ŋŋenda mu Esupaniya, era n'okunyamba mu lugendo olwo, bwe ndimala okubalabako n'okusanyukirako awamu nammwe.
25
Naye kaakati ŋŋenda e Yerusaalemi, okutwalira abatukuvu obuyambi.
26
Kubanga ab'e Makedoni n'ab'e Akaya baasiima okuwaayo ebintu eri abaavu ab'omu batukuvu abali e Yerusaalemi.
27
Baasiima okukikola; era ddala balina ebbanja gyebali, kuba oba ng'ab'amawanga bagabana ku mikisa gy'Abayudaaya egy'omwoyo, nabo basaana okugabana nabo ebintu eby'omubiri.
28
Kale bwe ndimala ekyo, bwe ndibakwasiza ddala ebyo ebyampeebwa, ndivaayo, ne mpitira ewammwe okugenda e Supaniya.
29
Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli ndijja n'omukisa gwa Kristo nga gutuukiridde.
30
Era mbeegayiridde, ab'oluganda, ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kw'Omwoyo, okufubiranga awamu nange mu kunsabira Katonda;
31
ndyoke mpone mu abo abatawulira mu Buyudaaya, n'okuweereza kwange kwe ntwala e Yerusaalemi kusiimibwe abatukuvu.
32
Olw'okwagala kwa Katonda, ndyoke njije gye muli n'essanyu, mpummulire wamu nammwe.
33
Era Katonda ow'emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16