bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 6
Romans 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
1
Kale tunaayogera tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga?
2
Nedda n'akatono! Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate?
3
Temumanyi nti ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu, era twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?
4
Bwe twabatizibwa, twaziikibwa wamu naye, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.
5
Kuba oba nga twagattibwa wamu naye mu kufa kwe, era tuligattibwa wamu naye ne mu kuzuukira kwe.
6
Tumanyi nti omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoke guzikirizibwe, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi.
7
Kubanga afudde aba takyafugibwa kibi.
8
Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye.
9
Tumanyi nti nga Kristo bwe yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga.
10
Kubanga okufa kwe yafa yafa ku kibi omulundi gumu, naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda.
11
Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
12
Kale ekibi kiremenga okufuga mu mubiri gwammwe ogufa, ne mugondera okwegomba kwagwo.
13
Temuwangayo bitundu byammwe eri ekibi okubikozesa obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abalamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubeeranga eby'okukozesa obutuukirivu eri Katonda.
14
Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa.
15
Kale tukole tutya? Tukolenga ekibi, kubanga amateeka si ge gatufuga, wabula ekisa? Nedda n'akatono!
16
Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu, muba baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ob'okuwulira okuleeta obutuukirivu?
17
Naye Katonda yeebazibwe, kubanga mmwe abali abaddu b'ekibi, mwawulira n'omutima gwammwe gwonna, ebyo ebiri mu njigiriza gye mwaweebwa.
18
Kale bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, mwafuuka baddu b'obutuukirivu.
19
Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwammwe, kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe okuba abaddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byammwe okubanga abaddu eri obutuukirivu okutukuzibwa.
20
Kubanga bwe mwabanga abaddu b'ekibi, mwabanga ba ddembe eri obutuukirivu.
21
Kale bibala ki bye mwalina mu biro biri eby'ebigambo ebibakwasa ensonyi kaakano? Kubanga enkomerero yaabyo kufa.
22
Naye kaakano bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu ba Katonda, mulina ebibala byammwe olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obutaggwaawo.
23
Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo eky'obuwa ekya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16