bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 4
Romans 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
1
Kale kiki kye tunaayogera ku Ibulayimu jjajjaffe kye yalaba mu mubiri?
2
Kubanga Ibulayimu singa yaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa, singa alina ekimwenyumirizisa; naye talina mu maaso ga Katonda.
3
Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu.
4
Kale, omukozi empeera ye temuweebwa ng'ekirabo, naye ng'ekyo kyateekwa okuweebwa.
5
Naye atakola, kyokka n'akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu.
6
Era ne Dawudi alangirira omukisa ku muntu, Katonda gw'abalira obutuukirivu awatali bikolwa, nti,
7
“Baweereddwa omukisa abaggibwako ebyonoono byabwe, Ebibi byabwe byabikkibwako.
8
Aweereddwa omukisa omuntu Mukama gw'atalibalira kibi.”
9
Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bokka, oba nantiki ne ku abo abatali bakomole? Kubanga tugambye nti okukkiriza kwe kwabalirwa Ibulayimu okuba obutuukirivu.
10
Kale kwabalwa kutya? bwe yali ng'akomoleddwa, nantiki bwe yali nga tannakomolebwa? Si bwe yali ng'akomoleddwa, naye nga tannakomolebwa:
11
n'aweebwa ekyokulabirako eky'okukomolebwa, akabonero k'obutuukirivu obw'okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa: alyoke abeerenga jjajjaabwe bonna abakkiriza nga si bakomole, babalirwenga obutuukirivu.
12
Era ye jjajja w'abakomole, so si w'abo abakomole obukomozi, naye abatambulira mu bigere by'okukkiriza kwa jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.
13
Kubanga okusuubiza tekwaweerwa Ibulayimu newakubadde ezzadde lye mu mateeka, nti alibeera musika wa nsi zonna, wabula mu butuukirivu obw'okukkiriza.
14
Kubanga ab'omu mateeka singa be basika, okukkiriza singa kudibye, era n'okusuubiza singa kuggiddwawo.
15
Kubanga amateeka galeeta obusungu; naye awatali mateeka, era tewabaawo kwonoona.
16
Kale ebyo Katonda bye yasuubiza bisinzira mu kukkiriza, okusuubiza kulyoke kubeerenga kwa kisa, era kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna.
17
Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w'amawanga amangi,” mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ng'ebiriwo.
18
Ibulayimu yakkiriza n'asuubira awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti, “Ezzadde lyo liriba bwe lityo.”
19
N'atanafuwa mu kukkiriza bwe yalowooza omubiri gwe nga gulinga ogufudde, kubanga yali awezezza emyaka nga kikumi (100), era nga ne Saala mugumba.
20
Teyalekayo kukkiriza, era teyabuusabuusa mu ebyo Katonda bye yamusuubiza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda,
21
era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola.
22
Era kyekwava kumubalirwa okuba obutuukirivu.
23
Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti, “kwamubalirwa;”
24
naye era ne ku lwaffe, abagenda okubalirwa, abakkiriza mu oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu,
25
eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16