bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 2
Romans 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
1
Kyova olema okubeera n'eky'okuwoza, ggwe omuntu, kyonna kyoli, bw'osalira omulala omusango; kubanga mu kusalira abalala omusango, naawe oba ogwesalidde okukusinga; kuba bo bye bakola, naawe agusala by'okolera ddala.
2
Tumanyi nga ensala ya Katonda mu mazima etuukira ddala ku abo abakola bwe batyo.
3
Olowooza ggwe omuntu, asalira abakola ebyo omusango okubasinga, so nga naawe by'okola, olowooza nti oliwona omusango Katonda gw'alisala?
4
Oba ekisa kya Katonda ekingi n'obuwombeefu n'okugumiikiriza, byonyoomye? Tomanyi nga ekisa kya Katonda weekiri olw'okukuleetera okwenenya?
5
Naye olw'obukakanyavu n'omutima oguteenenya, weeterekera obusungu obuliba ku lunaku olw'obusungu, obutuukirivu bwa Katonda obw'okusala omusango kwe bulibikkulirwa;
6
alisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe byali;
7
abo mu kugumiikiriza abanyiikira okukola ebirungi nga baluubirira okufuna ekitiibwa n'ettendo n'obutafa, alibasasula obulamu obutaggwaawo.
8
Naye abo abayomba, n'abatagondera mazima, naye bagoberera obutali butuukirivu, Katonda alibasunguwalira, n'abakambuwalira.
9
Walibaawo okubonyaabonyezebwa n'okulumizibwa, ku buli muntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani,
10
naye ekitiibwa n'ettendo n'emirembe, biribeera ku buli akola obulungi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani,
11
kubanga Katonda tasosola mu bantu.
12
Kubanga bonna abaayonoonanga awatali mateeka, era balizikirizibwa nga tebavunaanibwa mateeka, ate bonna abaayonoonanga nga balina amateeka, balisalirwa omusango okusinziira mu mateeka;
13
kubanga abawulira obuwulizi amateeka si be batuukirivu eri Katonda, wabula abo abakola amateeka bye galagira be baliweebwa obutuukirivu.
14
Kubanga ab'amawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu kutegeera okw'obuzaaliranwa bwabwe, ne batuukiriza ebyo amateeka bye galagira, abo, be baba bafuuse amateeka aga bafuga, newakubadde nga tebalina amateeka gali.
15
Balaga nti amateeka kye galagira kiwandiikiddwa mu mitima gyabwe, omwoyo gwabwe gukikakasa, kubanga ebirowoozo byabwe emirundi egimu bibalumiriza omusango, ate emirundi emirala bibawolereza;
16
ku lunaku olwo, okusinziira ku njiri yange, Katonda asala omusango gw'ebyama by'abantu ku bwa Yesu Kristo.
17
Naye ggwe bw'oyitibwa Omuyudaaya, ne weesigama ku mateeka, ne weenyumiririza mu Katonda,
18
n'omanya Katonda by'ayagala, n'osiima ebisinga obulungi, kubanga wayigirizibwa mu mateeka,
19
era bw'oba weekakasa ggwe okubeera omusaale w'abazibe b'amaaso, omusana gw'abali mu kizikiza,
20
omulagirizi w'abatalina magezi, Omuyigiriza w'abaana abato, kubanga tulina mu mateeka, ebisibiddwamu eby'amagezi n'eby'amazima;
21
kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki teweeyigiriza wekka? Abuulira obutabbanga, obba?
22
Agamba abalala obutayendanga, oyenda? Akyawa ebifaananyi, obba eby'omu biggwa?
23
Eyeenyumiririza mu mateeka, onyooma Katonda ng'osobya amateeka?
24
Kubanga erinnya lya Katonda livvoolebwa mu b'amawanga ku lwammwe, nga bwe kyawandiikibwa.
25
Kubanga okukomolebwa kugasa, bw'okwata amateeka; naye bw'oba omusobya w'amateeka okukomolebwa kwo kuba kufuuse obutakomolebwa.
26
Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu mateeka, obutakomolebwa bwe tebulibalibwa kuba kukomolebwa?
27
Era atali mukomole mu buzaaliranwa, bw'atuukiriza amateeka, talikusalira musango ggwe, asobya amateeka, newakubadde ng'olina ebyawandiikibwa mu mateeka era nga wakomolebwa?
28
Kubanga Omuyudaaya ow'okungulu si ye Muyudaaya; so n'okukomolebwa kw'omubiri okw'okungulu si kwe kukomolebwa,
29
naye Omuyudaaya ow'omunda ye Muyudaaya; n'okukomolebwa kwe okw'omu mutima, mu mwoyo, si mu nnukuta; atatenderezebwa bantu, wabula Katonda.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16