bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 3
Romans 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
1
Kale Omuyudaaya kiki ky'asinza abalala? Oba okukomolebwa kugasa ki?
2
Kugasa nnyo mu bigambo byonna, eky'olubereberye kubanga Abayudaaya baateresebwa ebyo Katonda bye yayogera.
3
Kubanga kiba ki abamu bwe bataba na kukkiriza, obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda?
4
Nedda, tekisoboka. Katonda aba wa mazima, buli muntu ne bw'aba omulimba; nga bwe kyawandiikibwa nti, “Obeere mutuukirivu mu bigambo byo, Osinge bw'osalirwa omusango.”
5
Naye obutali butuukirivu bwaffe bwe butenderezesa obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera tutya? Katonda si mutuukirivu bw'atubonereza n'obusungu? Njogera ng'abantu bwe boogera.
6
Nedda n'akatono! Kubanga, bwe kiba bwe kityo, Katonda alisalira atya ensi omusango?
7
Naye amazima ga Katonda bwe geeyongera okulabika olw'obulimba bwange ye n'aweebwa ekitiibwa, nze kiki ekinsaliza omusango nate ng'omwonoonyi?
8
Era kiki ekitulobera okwogera (nga bwe tuwaayirizibwa, era ng'abamu bwe boogera nti tugamba) nti, “Tukolenga ebibi, ebirungi biryoke bijje?” Abo okusalirwa kwabwe omusango kwa nsonga.
9
Kale kiki? Ffe Abayudaaya tulina kyetusinza abalala? Nedda, n'akatono. Kubanga tusoose okulaga nti Abayudaaya era n'Abayonaani bonna bafugibwa kibi,
10
nga bwe kyawandiikibwa nti, “Tewali mutuukirivu n'omu;
11
Tewali ategeera, Tewali anoonya Katonda;
12
Bonna baakyama, baafuuka batasaana wamu; Tewali akola obulungi, tewali n'omu;
13
Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Balimba n'ennimi zaabwe; Obusagwa bw'embalasaasa buli wansi w'emimwa gyabwe:
14
Akamwa kaabwe kajjudde okukolima n'okukaawa:
15
Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi;
16
Okuzikirira n'obunaku biri mu makubo gaabwe;
17
So tebamanyanga kkubo lya mirembe.
18
Tewali kutya Katonda mu maaso gaabwe.”
19
Naye tumanyi nga byonna amateeka bye googera, gagamba abo abalina amateeka; buli kamwa konna kazibibwe, n'ensi zonna zibeereko omusango eri Katonda.
20
Kubanga olw'ebikolwa by'amateeka alina omubiri yenna taliweebwa butuukirivu mu maaso ge, kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi.
21
Naye kaakano awatali mateeka obutuukirivu bwa Katonda, obutegeezebwa amateeka ne bannabbi, bulabisibwa;
22
bwe butuukirivu bwa Katonda olw'okukkiriza Yesu Kristo eri bonna abakkiriza; kubanga tewali njawulo;
23
kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda;
24
naye baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kisa kye olw'okununulibwa okuli mu Kristo Yesu.
25
Katonda gwe yassaawo okuba omutango, olw'okukkiriza omusaayi gwe, okulaga obutuukirivu bwe, olw'okuleka ebibi ebyakolebwanga edda, Katonda ng'agumiikiriza;
26
okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino, alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu buli akkiriza Yesu.
27
Kale okwenyumiriza kuli luuyi wa? Tekuuliwo. Lwaki tekuuliwo? Tekuuliwo olw'ebikolwa? Nedda, naye lwa kukkiriza.
28
Kyetuva tukakasa ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza sso si lwa kutuukiriza bikolwa bya mu mateeka.
29
Oba Katonda, Katonda wa Bayudaaya bokka? Si Katonda wa b'amawanga n'abo? Weewaawo, era n'aba mawanga n'abo waabwe.
30
Olw'okuba Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza.
31
Kale amateeka tugaggyawo olw'okukkiriza? Nedda, nakatono. Naye tuganyweza bunyweza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16